TOP

'Fair play' teri mu mateeka ga mupiira

Added 5th June 2012

OMUZANNYI bw’alwala, lwaki olumu ddii ri ayimiriza omuzannyo, ate olulala n’ataguyimiriza? Etteeka nnamba 5 lirambika bulungi engeri ddii ri gy’alina okukola ng’omuzannyi alwadde!

OMUZANNYI bw’alwala, lwaki olumu ddii ri ayimiriza omuzannyo, ate olulala n’ataguyimiriza? Etteeka nnamba 5 lirambika bulungi engeri ddii ri gy’alina okukola ng’omuzannyi alwadde! 

Ddiifiri y’alina okusalawo oba alumiziddwa nnyo oba nedda. Etteeka ligamba nti ddii ri bw’alaba ng’omuzannyi alumiziddwa nnyo, ayimiriza omuzannyo, ayita abasawo ne bajja bamuwa ku bujjanjabi obusookerwako ( rst aid) katono, n’afulumizibwa ebweru okujjanjabirwa ddala! 

Ddiifiri bw’alaba nga talumiziddwa nnyo, etteeka limulagira obutayimiriza muzannyo! Aguleka ne gugenda mu maaso, oluvannyuma omuzannyo nga guyimiridde, asobola okutuukirira omuzannyi, n’amubuuza oba yeetaaga omusawo! Bw’addamu nti “ye”, olwo ddii  ri ayita omusawo, omuzannyi afulumizibwa ebweru, n’ajjanjabwa. 

Ekiyitibwa ‘fair play’ (omutima ogulumirwa muzannyi munno n’oyisa omupiira ebweru), Bazungu be basinga okukyettanira, naye FIFA, eyagala ddii ri asigaze obuyinza ku muzannyi alumiziddwa, lwa nsonga nti, abazannyi abamu, okukuba omupiira ebweru, bakikozesa bubi, nga bamala nnyo obudde naddala nga ttiimu zaabwe ze zikulembedde, oba nga zirumbibwa nnyo! 

Fair play teri mu mateeka omupiira kwe gusambirwa. Bwe mugikozesa, ttiiimu gye muwadde omupiira n’ebateeba, ggoolo ddii ri abala mbale!

‘Fair play’ teri mu mateeka ga mupiira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anite ku ddyo ng'atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono

Eyatemudde mukwano ggwe n'a...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganziwe mu bizinga by’e Kalangala....

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...