TOP

Sekaggya awadde Cranes obukodyo obumegga Senegal: Mugirumbe

Added 8th June 2012

EYALI Kapiteeni wa Cranes, Ibrahim Sekaggya awadde Cranes amagezi ku Senegal gye battunka nayo ku Lwomukaaga

Bya Williams D.  Kibanga

Lwamukaaga mu World Cup:

Cranes - Senegal (Namboole)

Essaawa: 10:00

Ebisale: 25,000/- ne 80,000/-

EYALI Kapiteeni wa Cranes, Ibrahim Sekaggya awadde eyamuddira mu bigere ku bukulu obwo, Andy Mwesgiwa amagezi ku Senegal gye battunka nayo ku Lwomukaaga mu z’okusunsulamu abalizannya World Cup ya 2014 mu Brazil.

Sekaggya, eyakyaddeko mu nkambi ya Cranes e Namboole eggulo (Lwakuna),  agamba nti engeri yokka Cranes gy’esobola okufuna obubonero obusatu, yaakulumba Senegal obutasalako.

“Senegal ejjudde bassita abazannyira mu ttiimu ennene kyokka Cranes bw’egirumba obutagiweeza, teyinza kuwonera Namboole kuba ttiimu ennene ezizze, tuzikubidde mu kakodyo ako,” Sekaggya bw’agamba.

Guno mulundi gwakubiri nga Senegal ekyala mu Uganda nga n’ogwasooka mu 2011, baalemagana 0-0.

Abazannyi bayiiseemu kavvu:
Pulezidenti wa FUFA, Lawrence Mulindwa, yazzizzaamu abazannyi ba Cranes amaanyi bwe yawadde buli omu ku abo abaalemaganye ne Angola (1-1)ku Ssande akakadde k’ensimbi buli omu sso nga n’abo abaasigala mu nkambi nabo baafunye ebbaasa enzito buli omu.

Mu ngeri y’emu, yasuubizza nti ebirungi bikyajja singa bamegga Senegal enkya (Lwamukaaga). Yagambye nti, “Njagala ebirowoozo byammwe byonna mu bisse ku mupiira guno era singa muguwangula, ebirungi okuva mu FUFA bijja kweyongera okubeeyuna.”

Eggulo (Lwakuna) ttiimu ya Senegal yatuuse mu ggwanga.

Sekaggya awadde Cranes obukodyo obumegga Senegal: Mugirumbe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...