TOP

Congo tujja kugirumba obutasalako - Bobby

Added 16th June 2012

Cranes esigalidde buwanguzi bwokka obugisobozesa okwesogga oluzannya oluddako.

Bya WILLIAMS KIBANGA NE HASFAH SSONKO

Lwamukaaga mu za Afrika:

Cranes - Congo Brazzaville

Ebisale: 10,000/- ne 30,000/-

Essaawa: 10:00 (Namboole)

ENTEEKATEEKA zonna ziwedde, abazannyi bonna bali mu mbeera nnungi, ekisaawe kiyooyooteddwa nga kati ekisigalidde buwanguzi bwokka okuva eri Cranes obugisobozesa okwesogga oluzannya oluddako.

Cranes ettunka ne Congo Brazzaville gy’eyagalako obuwanguzi bwa ggoolo (2-0) okweyongerayo okuzannya oluddako mu z’okusunsulamu abalizannya eza Afrika e South Afrika omwaka ogujja.

Omutendesi wa Cranes, Bobby Williamson okwawukanako n’emirundi egiyise, aweze nga bw’agenda okulumba okufiirawo okulaba ng’afuna obuwanguzi Bannayuganda bwe bayaayaanira.  

Wano nga baddukira mu mazzi.
 

Mwesigwa agutandika:
Kapiteeni Andy Mwesigwa abadde atawaanyizibwa obuvune mu kisambi bwe yafuna ku gwa Senegal, yassuuse era asuubirwa okuduumira ttiimu.

Cranes yaakamala emyaka 8 nga tekubwamu e Namboole  era abazannyi bamativu nti bwe baba basobola okujojobezaawo ttiimu ennene nga Nigeria, Senegal ne Ghana, ne Congo Brazzaville tejja kubawona.


Massa, Wasswa ne Masaba nga bali mu mazzi.
 

Bobby awawudde abateebi:
Mu kutendekebwa ku Lwokuna, Bobby yazzeemu okugezesa abazannyi abalumba alabe oba banaasobola okukola ky’ayagala.

Abateebi Brian Umony, Geoffrey Massa ne Emma Okwi bonna basuubirwa okutandika eno nga bwe bawerekerwako Moses Oloya ne Mike Sserumaga eyateeba Congo mu Brazzaville. 


Henry Kalungi ng’akuba omupiira.

Omutendesi wa Congo Brazzaville, Jean-Guy Wallemme yalaze okutya eri oludda lwa Cranes olwa kkono era n’asuubiza okulufunira eddagala.

Abasuubirwa okutandika; Denis Onyango, Simeon Masaba, Godfrey Walusimbi, Henry Kalungi, Andy Mwesigwa, Hassan Wasswa, Moses Oloya, Mike Sserumaga, Emma Okwi, Brian Umony ne Geoffrey Massa.

Congo tujja kugirumba obutasalako - Bobby

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...