OMUTENDESI wa Cranes Bobby Williamson afalaasidde abazannyi be balumbe obutasalako nga battunka ne Congo Brazaville leero (Lwamukaaga) e Namboole obuteefaananyirizaako bwe gwali ku Lwomukaaga nga bagwa amaliri 1-1 ne Senegal mu gw’okusunsulamu mu za World Cup.
Cranes erina kuwangulira ku ggoolo 2-0 okuyitamu ku luzannya oluddako mu gy’okusunsulamu mu za Afrika ez’omwaka ogujja e South Afrika.
Buli muteebi ku bana abali mu nkambi; Emmanuel Okwi, Geoffrey Massa, Robert Sentongo ne Brian Umony, awera nti singa aweereddwa omukisa okutandika leero waakukola butaweera si kuwangula kyokka wabula okuteeba ggoolo eziwerako nga beeyunira okutuusa omupiira mu ntabwe ya Congo.
Naye kino tekimala wabula Cranes yeetaaga abazannyi abawerako nga basamba beeyunira okuyingira entabwe ya ggoolo y’omulabe n’okukuba emipiira mu ggoolo ate ng’emabega tebeggudde kuwa mulabe kyanya kukola nnumba za mulabe ku ggoolo yaabwe.
Pulaani ya Bobby, agyetooloolezza ku kuzannyira mu kitundu kya Congo Brazaville okusinziira ku kutendekebwa wiiki eno kwe yeetooloolerezza ku kulumbisa abateebi basatu Okwi, Umony ne Massa mu kakodyo ka 4-3-3.
Sserumaga, eyateebera Cranes mu Congo.
Massa, Umony ne Okwi boolesezza omutindo omulungi mu kutendekebwa kye ndowooza nti kyandisikiriza Bobby okubatandisa ate nze kye ndaba nti kiyinza obutayamba kuba Cranes terina muzannyi mukujjukujju azannyira emabega w’abateebi okubakolera emipiira ekibaviiriddengako okulogang’ana mu kisaawe.
Mu mbeera eno, nandisuubidde Bobby okulumbisa abateebi babiri n’aleeta Moses Oloya ne Steven Bengo ku wingi okubasaliza emipiira. Cranes yandiganyulwa okusinga okutandisa Massa, Umony ne Okwi omulundi ogumu.
Ekirala, ndaba nga kya bulabe abateebi bonsatule Bobby okubatandisa n’ateerekererayo ayinza kusitula muzannyo singa Cranes tebisoose kugitambulira bulungi nga bwe gwali ku Senegal ku Lwomukaaga Massa bwe yayingiramu n’agifunira peneti eyakyusa omuzannyo. Nnandisuubidde nti Bobby yandisigadde ku kakodyo ka 4-4-2.
Cranes boogeza bumalirivu okuyita ku Congo Brazaville ekindaze nti kye baagala bakimanyi era beetegefu okukikolerera kati kisigalidde eri bawagizi kubakwasizaako nga tuboolekeza emizira okubazzaamu amaanyi.
Mubirua2002@yahoo.co.uk (0774054636)
Cranes okumegga Congo amaanyi egasse ku wingi