TOP

Golola yeetonze:'Munsonyiwe akasajja kannemye okugaaya'

Added 1st July 2012

OLUVANNYUMA lw’okukubwa omulundi ogwokubiri awaka, omukubi w’ensambaggere Moses Golola yeetondedde abawagizi be ne Bannayuganda okutwaliza awamu olw’okubayiwa.

Bya HAMID KALANZI
 
OLUVANNYUMA  lw’okukubwa omulundi ogwokubiri awaka, omukubi w’ensambaggere Moses Golola yeetondedde abawagizi be ne Bannayuganda okutwaliza awamu olw’okubayiwa.  
 
Yalemeddwa okuwangula Omuzungu Mate Zsamboki, 23, enzaalwa y’e Hungary mu lulwana olwabadde ku Kyaddondo Rugby Grounds mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.
 
“Abawagizi bange mwenna munsonyiwe olw’okubafuuyisa empewo nga muzze okumpagira wabula akasajja ne kannema okukuba. Akasajja bwe nnabadde nkasuubira si bwe kaabadde era nagenze okwesanga nga kagumu okunsinga.” Bwe yeetonze
 
Yagasseeko nti, “Golola saafudde era nkyaliwo era mbasuubiza nti omulundi omulala nja kubawa essanyu buli omu akakase nti ndi lwazi  nga bulijjo bwe mbagamba.”
 
Golola, 31, yeekwasizza okuseerera mu lulwana olwokuna n’afuna obuvune mu vviivi obwamulemesezza okudda mu nsiike kyokka n’asuubiza olulwana lw’okudding’ana.
 
Ebyakubizza Golola:
 
1. Zsamboki yabadde asingira wala Golola era obukodyo bwe yabadde mu migwa kino yakiraze.
 
2. Abatendesi ba Golola banafu. Basinga kumutendeka kukozesa maanyi mu kifo ky’obukodyo. 
 
3. Ekibiina kya Kick Boxing mu Uganda tekirung’amizza Golola ku by’alina kukola. 
 
4. Golola tagendera ku bye bamugamba. Ebiseera ebisinga abimala ayogera. 

Golola yeetonze:‘Munsonyiwe akasajja kannemye okugaaya’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...