
MINISITULE y’emizannyo mu bwakabaka bwa Buganda buli mwaka efubye okulaba ng’ekuuma omutindo gw’emipiira gy’Ebika
bya Buganda.
Okuva lwe gyaddamu okutojjera mu 1987, emipiira egyo gibadde gizannyibwa buli mwaka mu kubaka n’omupiira ogw’ebigere era nga Ssaabasajja abadde asiima okugiggulawo n’okugiggalawo.
Emipiira gy’ebika omwaka guno, gyagguddwaawo nga July 23 mu kisaawe e Nakivubo ng’ebika 42 bye byagyetabyemu.
Mu 2004, Beene yasiima okutongoza emipiira gy’Amasaza egiyinda buli mwaka nga giwakanirwa amasaza ga Buganda 18 mu nkola ey’okukyaliragana.
Gino gikoze kinene okukumaakuma abantu ba Ssaabasajja mu masaza agenjawulo ssaako okuvaamu abazannyi abatuuse ne ku ttiimu z’eggwanga ezenjawulo. Gyetabwamu abantu bonna awatali kusosola mu ggwanga. Buluuli be balina ekikopo kino bwe baakuba Bulemeezi (2-1) ku fayinolo.
EMIZANNYO MU MASOMERO:
Amasomero ga siniya gavuganya ku Buganda Cup mu mupiira ogw’ebigere, okubaka (abawala). Mu masomero ga pulayimale, abalenzi bawakanira Kabaka Cup ate okubaka mu bawala, ne bawakanira Nabagereka Cup. Bino bitegekebwa buli mwaka.
Ebintu 7 emizannyo gye bifunye mu myaka 19 egy’Amatikkira ga Kabaka Okuddukanya obulungi emizannyo, waliwo obukiiko
obwateekebwawo okuyamba ku minisitule y’emizannyo okugitwala mu maaso.
Muno mulimu; Bika Football Committee (kategeka mipiira gya bika), Masaza Football Committee (kategeka mipiira gy’Amasaza), Buganda Schools Sports Council (kategeka mizannyo gy’amasomero), akakiiko akategeka empaka z’amaato n’obukiiko obulala. Buno bukoze nnyo okukwatirako minisitule y’emizannyo mu kutumbula emizannyo egyenjawulo.
EMMOTOKA Z’EMPAKA:
Olubiri lwa Beene e Mmengo, lukozesebwa okuvugiramu mmotoka ne pikipiki z’empaka. Kino tekikomye kuganyula bavuzi wabula n’abawagizi buli mulundi abajjumbira okugenda balabe abavuzi baabwe bwe babonga ebyuma.
EKIGWO GGUMBYA:
Nakyo kya kwenyumiriza eri Obwakabaka bwa Buganda mu myaka 19 egy’Amatikkira. Abasajja n’abazaana ba Kabaka bangi bakung’aanira ku mbuga ekigwo gye kibeera okulaba ku bamegganyi baabwe. Abaami b’amasaza agaba gavuganya nabo tebalutumirwa mwana.
EMISINDE: Embiro za Buganda
Road Race ezitegekebwa Obwakabaka buli mwaka, gyongedde okussaawo obumu mu bwakabaka. Gino gisimbula mu Lubiri era gyetwabwamu abawagizi bangi. Ng’oggyeeko
LUZZE FRED:
Emizannyo mikulu nnyo mu Buganda kuba bitumbudde ebitone by’abavubuka bangi nga n’abasinga mwe bafunye ettutumu naddala mu mipiira gy’ebika n’amasaza.
SOLOME NAKIRIDDE (ewa Bakuli):
Emizannyo gisaanye okuteekebwa ku mwanjo mu Buganda kuba kye kimu ku bitumbudde abavubuka ate si mu Buganda yokka. ekyo, ne baminisita ba Kabaka abakulemberwamu Katikkiro Ying. J.B Walusimbi nabo beetaba mu misinde gino.
Mu kutumbula omutindo gw’abatendesi ne baddiifi ri b’omupiira bangi batendekeddwa okuyitira mu ofi isi ya Katikkiro nga batendekebwa abakugu okuva mu Bungereza abakulemberwa Munnayuganda Steven Sempasa.
OKUSOOMOOZEBWA:
1. Ebbula lya ssente: Lisannyalazza emizannyo mingi okusinziira ku minisita Herbert Ssemakula. Agamba nti emizannyo gyetaaga ssente nnyingi oluusi ezitafunika. Kino oluuusi kikosa empaka ezandizannyiddwa ne zisazibwamu oba oluusi ne zirwawo okutandika.
2. ‘Ekitundabisaawe’: Mu Buganda kumpi buli kyalo n’essomero byalinanga ekisaawe ekyalyo. Kino kyayambanga abantu okwenyigira mu mizannyo egyenjawulo mu budde we baayagaliranga. Wabula olw’abagagga abazze bagula ettaka, ebisaawe bingi birugendeddemu.
3. Ebikozesebwa ebirala mu mizannyo nabyo bya kkekwa ng’abantu ba Ssaabasajja bangi bakaluubirirwa okubaako emizannyo gye bazannya kuba tebalina bikozesebwa okuliemipiira, emijoozi, ebikozesebwa mu bikonde n’emizannyo emirala.
4. Buganda tennafuna bikozesebwa mu kukuuma bwino w’abazannyi (Data Base). Minisita Ssemakula agamba nti tebalina aleeta nkulaakulana mu mizannyo.
“Tuwagira nnyo emizannyo naddala mu baana abato kubanga gwe musingi gwa Buganda ne Uganda yonna naye kizibu okubalondoola ne tumanya we batuuse nga bakuze,” minisita bwe yategeezza.
Okutwalira awamu mu myaka 19, egy’Amatikkira ga Kabaka, emizannyo gigezezzaako okuwagirwa naye ebbula ly’ensimbi gwe muziziko ogusinga okulemesa enkulaakunya yaago.
Ebintu 7 emizannyo gye bifunye mu myaka 19 egy’Amatikkira ga Kabaka