TOP

Bobby agobye abazannyi ab'ekibogwe mu Cranes

Added 2nd August 2012

OMUTENDESI wa Cranes, Bobby Williamson asinzidde ku butaka e Scotland, gy’ali mu luwummula, n’agoba abazannyi mukaaga (6) ab’ekibogwe mu Cranes.

Bya HASFAH  SSONKO

August 15 mu gw’omukwano:

Malawi - Uganda Cranes

September 8 mu za Afrika:

Zambia - Cranes, Lusaka

OMUTENDESI wa Cranes, Bobby Williamson asinzidde ku butaka e Scotland, gy’ali mu luwummula, n’agoba abazannyi mukaaga (6) ab’ekibogwe mu Cranes.

Mu bazannyi 25 b’ayungudde okuzannya ogw’omukwano ne Malawi era nga mw’asuubira okulonda ttiimu enettunka ne Zambia mu gw’empaka za Afrika omwezi ogujja, mulimu Martin Kayongo Mutumba ne Fabian Kizito, abazannyira ensimbi mu Bulaaya.

Mutumba, eyali asuubirwa okusikira David Obua, yavumbeera nga Cranes eremagana (1-1) ne Senegal e Namboole, ekirabika nga kye kimusuuzizza.

Mutumba, azannyira mu AIK Stockholm mu Sweden ate Kizito azannyira Budaaki. Abalala abasuuliddwa, ye Patrick Ochan (TP Mazembe eya DR Congo), Johnson Bagoole ne Habib Kavuma (APR, Rwanda) ne Abel Dhaira ali mu Iceland.

Bobby akomawo ku Ssande olwo Cranes etandike okutendekebwa ku Lwokusatu olujja nga yeetegekera Malawi nga August 15 mu Blantyre.

Abazannyi 25 abaayitiddwa; D. Onyango, S. Masaba, R. Ssentongo, H. Muwonge, N. Wadada, G. Walusimbi, A. Mwesigwa, J. Owino, H. Kalungi, M.e Sserumaga, S. Matovu, I. Isinde, A. Kimera, D. Guma, J. Ochaya ne M. Oloya.
Abalala kuliko; G. Kizito, D. Wagaluka, T. Mawejje, Hassan Wasswa, S. Bengo, G. Massa, B. Umony, E. Okwi ne H. Kiiza.
Mu nfunda ebbiri Cranes gy’esisinkanye Malawi, ewanguddeko gumu ne balemagana gumu.

Bobby agobye abazannyi ab’ekibogwe mu Cranes

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...