TOP

Ssimbwa atandise egya Victoria University

Added 2nd August 2012

SINGA okuyiwa omusimbi mu kugula abazannyi by’ebyali ebikopo, ekya sizoni ejja Victoria University yandibadde ekimaze.

SINGA okuyiwa omusimbi mu kugula abazannyi by’ebyali ebikopo, ekya sizoni ejja Victoria University yandibadde ekimaze. Yaakasaasanya ssente ezisoba mu bukadde 180 mu kugula abazannyi n’okufuna omutendesi omuggya Sam Ssimbwa.

Yagula Dennis Guma ku bukadde 25, Sadam Juma (obukadde 28), Martin Mpuuga ne Geoge Abege (bombi ba bukadde 37). Ali Kimera yakwata obukadde 14, Noah Ssemakula ne Lawrence Kasaada (bombi baamazeewo 40), ne Manco Kaweesa obukadde 25. Willy Nakibinge (mutabani wa Ssimbwa) ye waakusomera bwereere diguli ye kuno kwossa omutendesi Ssimbwa eyawemmense obukadde 38.

Ssimbwa yayanjuddwa eggulo n’ategeeza nti, “Ekigendererwa kyange ng’omutendesi kyakuwangula bikopo wabula ku mulundi guno njagala kulaba nga ttiimu yaffe emalira mu bifo ebisatu ebisooka kuba abazannyi baffe balungi ekimala.” 

Ssimbwa yawangudde ekikopo kya liigi ne Express era ne kifuuka ekikopo kya Express ekyasoose mu myaka 16. 

Ssimbwa atandise egya Victoria University

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.