TOP

Kapiteeni wa Cranes alwadde

Added 7th August 2012

NG’EBULA omwezi gumu Cranes ettunke ne Zambia mu za Afrika omwaka ogujja, waliwo ekyekango ekizze eri Uganda.

Bya RICHARD MUGERWA

September 8 mu za Afrika:

Zambia - Uganda Cranes

NG’EBULA omwezi gumu Cranes ettunke ne Zambia mu mupiira ogusalawo alyetaba mu za Afrika omwaka ogujja, waliwo ekyekango ekizze eri Uganda.

Ku Ssande, kapiteeni wa Cranes, Andy Mwesigwa teyazannyidde Ordabasy FC mu liigi y’e Kazakhstan lwa buvune.

Taraz FC yabakubye ggoolo 3-1 kyokka Mwesigwa yagumizza abawagizi be ku mukutu gwa facebook nti alina essuubi ng’ogwa Zambia gujja kumusanga awonye.

Zambia ekyaza Cranes nga September 8 badding’anire e Nakivubo nga October 13.

Eya Sekaggya eyokya
Salzburg FC, omuzannyira eyali kapiteeni wa Cranes, Ibrahim Sekaggya, yeenywenyerezza ku ntikko ya liigi ya Austria oluvannyuma lw’okukuba Wolfsberger ggoolo 2-0.

Eya Mutumba evuya

Ttiimu ya Martin Mutumba, eya AIK Stolkholm yawuttuddwa Kalmar FC ggoolo 2-1 mu liigi y’e Sweden.AIK eri mu kifo kya 4 n’obubonero 30 mu mipiira 18.

Kapiteeni wa Cranes alwadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...