TOP

Botswana Eyise Cranes

Added 21st August 2012

KYADDAAKI ttiimu y’eggwanga Cranes efunye eggwanga lye yeegezaamu nalyo nga tennattunka na Zambia mu za Afrika omwezi ogujja.

Bya Hasfah Ssonko

Ssande:
Botswana - Uganda

September 8:
Zambia - Uganda
 
KYADDAAKI ttiimu y’eggwanga Cranes efunye eggwanga lye yeegezaamu nalyo nga tennattunka na Zambia mu za Afrika omwezi ogujja. 
 
Cranes, eyalina okuzannya Malawi ku bugenyi ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, yayimirizibwa olwa Malawi
okutya obulwadde bwa ebola obwazinda Uganda. 
 
FUFA ebadde ekyayigga ttiimu ez’okukyalira, Botswana n’egisala ku muguwa bw’eyise Cranes beegezeemu ku Ssande. Cranes esitula ku Lwakutaano ng’omutendesi Bobby Williamson asuubirwa okutwala abazannyi 18. 
 
Ensonda ezeesigika mu FUFA zaategeezezza nti omupiira gw’oku Ssande bwe gunaggwa e Gaborone, Cranes yaakukuba enkambi mu eggwanga eririraanye Botswana okutuusa lwe gye baliva okwolekera Zambia. 
 
Omupiira gwa Cranes ne Zambia gwakuzannyibwa nga September 8, badding’ane nga October 13 e Namboole okulabako alyetaba mu za Afrika e South Afrika omwaka ogujja. 
 
Botswana, eriraanye Zambia mu bukiikaddyo, yeetabye mu za Afrika eziwedde e Gabon ne Equatorial Guinea kyokka teyavudde mu bibinja. Yalemaganye 3-3 ne Tanzania ate Zambia yakubiddwa South Korea 2-1 wiiki ewedde.

Botswana Eyise Cranes

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...