TOP

Botswana eyise Cranes

Added 21st August 2012

KYADDAAKI ttiimu y’eggwanga Cranes efunye eggwanga lye yeegezaamu nalyo nga tennattunka na Zambia mu za Afrika omwezi ogujja.

Bya Hasfah Ssonko

Ssande:

Botswana - Uganda

September 8:

Zambia - Uganda

KYADDAAKI ttiimu y’eggwanga Cranes efunye eggwanga lye yeegezaamu nalyo nga tennattunka na Zambia mu za Afrika omwezi ogujja.

Cranes, eyalina okuzannya Malawi ku bugenyi ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, yayimirizibwa olwa Malawi okutya obulwadde bwa ebola obwazinda Uganda.

FUFA ebadde ekyayigga ttiimu ez’okukyalira, Botswana n’egisala ku muguwa bw’eyise Cranes beegezeemu ku Ssande. Cranes esitula ku Lwakutaano ng’omutendesi Bobby Williamson asuubirwa okutwala abazannyi 18.

Ensonda ezeesigika mu FUFA zaategeezezza nti omupiira gw’oku Ssande bwe gunaggwa e Gaborone, Cranes yaakukuba enkambi mu eggwanga eririraanye Botswana okutuusa lwe gye baliva okwolekera Zambia.

Omupiira gwa Cranes ne Zambia gwakuzannyibwa nga September 8, badding’ane nga October 13 e Namboole okulabako alyetaba mu za Afrika e South Afrika omwaka ogujja.

Botswana, eriraanye Zambia mu bukiikaddyo, yeetabye mu za Afrika eziwedde e Gabon ne Equatorial Guinea kyokka teyavudde mu bibinja. Yalemaganye 3-3 ne Tanzania ate Zambia yakubiddwa South Korea 2-1 wiiki ewedde.

Botswana eyise Cranes

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....