TOP

Bobby alabudde abazannyi abazito: 'Nja kubagoba'

Added 31st August 2012

OLWALEERO (Lwakutaano), Cranes lw’etandika okutendekebwa okwa kaasammeeme nga tennattunka na Zambia ku Lwomukaaga olujja mu gusunsula abalyetaba mu mpaka za Afrika ez’omwaka ogujja.

Bya WILLIAMS KIBANGA  NE HUSSEIN BUKENYA

September 8 mu za Afrika:

Zambia - Uganda

OLWALEERO (Lwakutaano), Cranes lw’etandika okutendekebwa okwa kaasammeeme nga tennattunka na Zambia ku Lwomukaaga olujja mu gusunsula abalyetaba mu mpaka za Afrika ez’omwaka ogujja.

Okutendekebwa kuli mu kisaawe e Namboole kyokka omutendesi wa Cranes, Bobby Williamson, alabuliddewo abazannyi nti gw’anaasanga nga muzito nnyo (tali fiiti) waakugobwa.

“Ennaku tusigazza ntono nnyo ate ng’omupiira gwa Zambia mukulu nnyo. Njagala bazannyi bali fiiti bokka era gwe nnaasanga nga muzito ekisusse ng’enda kumugoberawo.” Bobby bwe yategeezezza.

Kapiteeni Andy Mwesigwa asuubirwa kutuuka leero (Lwakutaano) ssaako Moses Oloya, Geoffrey ‘Baba’ Kizito ne Brian Umony, abazannyira e Vietnam.

“Bapulofeesono bonna tubasuubira okuggwaayo ku Ssande tusimbule okugenda e Zambia ku Lwokuna,” maneja wa Cranes, Crispus Muyinda bwe yategeezezza.

Abazannyi 24 be baayitiddwa okutendekebwanga ku makya n’olweggulo, basulenga mu Sky Hotel e Nnaalya. Zambia, kyampiyoni wa Afrika, yaakudding’ana ne Cranes nga October 13.

Edward Ssali (waggulu) ne Isaac Isinde aba Cranes.

Bobby alabudde abazannyi abazito: ‘Nja kubagoba’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...