TOP

Cranes ne Zambia tewali atidde munne

Added 8th September 2012

KYADDAAKI ensiike mulindwa etuuse, nga Zambia erwana kuddayo mu za Afrika erwanirire ekikopo ky’erina ate nga Uganda eri ku lutabaalo lwa kweyozaako nnaku n’ekikwa eky’emyaka 34 ng’empaka zino ezikonga lusu.

 KYADDAAKI ensiike mulindwa etuuse, nga Zambia erwana kuddayo mu za Afrika erwanirire ekikopo ky’erina ate nga Uganda eri ku lutabaalo lwa kweyozaako nnaku n’ekikwa eky’emyaka 34 ng’empaka zino ezikonga lusu. 

Cranes, eyatuuse eggulo e Ndola, eri mu mbeera nnungi nga ky’erinze ssaawa yokka esumulule omudumu okugwolekeza bannyinimu. 

Obuwanguzi bwa Cranes mu nsiike eno tebugenda kukoma ku kuwuniikiriza nsi ya mupiira wabula ejja kutwalibwa nga kyampiyoni wa Afrika oluvannyuma lw’okufootola abalina ekikopo (Zambia)!

Ekisaawe kino ekya Levi Mwanawasa Stadium ke kattiro ka Zambia era mu June yakubiddemu Ghana (omu ku bakirimaanyi ba Afrika) ggoolo 1-0 mu kusunula aba World Cup (2014). Wabula Ghana yeemulugunyiriza ddiifiri okugisaliriza era Cranes esabirira ddiifiri Doue Noumandiez Desire aleme kulamuza mancoolo!

“Zambia tugitwala nga ttiimu endala yonna. Tetulina gwe tutya,” omutendesi Bobby Williamson bwe yategeezezza mu kutendekebwa eggulo n’afalaasira abazannyi ‘okukweka’ omupiira n’okuzibira awamu kitole nga Zambia egubabbyeeko ssaako okwewala ensobi ez’ekyeyonoonere.

Bobby yeegattiddwaako omuwuwuttanyi Hassan Wasswa, agambye nti, “Tukimanyi nti batutidde era naffe tugenda kufiirawo omupiira guno tuguggyemu ekiramu.”

Abasuubirwa okutandika:

Cranes: Onyango, Masaba, Jjajja Waalu, Kalungi, Mwesigwa, Wasswa, Oloya, Kizito ‘Baba’, Okwi, Mawejje, Sserumaga.

Zambia: K. Mweene, H. Himoonde, J. Musonda, S. Sunzu, D. Nkausu, R. Kalaba, N. Sinkala, I. Chansa, E. Mayuka, C. Katongo, C. Lungu.

Cranes ne Zambia tewali atidde munne

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...