
Bya Fred Kaweesi, Ndola Zambia
NGA bwe gwali omwaka oguwedde e Namboole ku gwa Kenya, ne ku mulundi guno Namboole y’asalawo oba Cranes yeggyako ekikwa ky’emyaka 34 nga tezannya mu mpaka za Afrika.
Eggulo, Cranes yakubiddwa Zambia ggoolo 1-0 mu gw’okusunsulamu abalyetaba mu za Afrika omwaka ogujja e South Afrika nga kati okuyitamu, yeetaaga kuwangulira Namboole ku ggoolo 2-0 mu gw’okudding’ana.
Omutindo Cranes gwe yayolesezza eggulo guwa essuubi nti esobola okuteeba ggoolo 2-0 naddala singa omutendesi Bobby Williamson ayongera okuwawula abateebi.
Mu ddakiika eya 20, kapiteeni wa Zambia, Chris Katongo, yeemuludde ku bazibizi ba Cranes okuteebera bannyinimu ggoolo eyabawadde obuwanguzi kyokka Cranes teyavudde ku mulamwa.
Yeeyongedde kukuuma mupiira n’okuzibikira ebibangirizi okutangira abateebi ba Zambia obutasensera ntabwe.
Bobby yakomese amakkati ga Cranes mwe yazannyisizza abawuwuttanyi bataano omuli, Hassan Wasswa, Kizito Baba, Tonny Mawejje, Moses Oloya ne Mike Serumaga mu kakodyo ka 4:5:1.
Mu kitundu ekyokubiri, Bobby yabatagguluddeko n’ayingiza Hamis Diego Kiiza mu kya Serumaga, ekyayambe ku Emmanuel Okwi ate Dan Wagaluka n’asikira Moses Oloya okwongera embavu mu kulumba, katono muveemu ebibala.
Kiiza yasalizza Wagaluka omupiira n’ayingira entabwe kyokka omukwasi wa Zambia, Kennedy Mweene n’aggyamu ennyanda gye yatutte.
Zambia, bakyampiyoni ba Afrika, ba Afrika baakukyalira Cranes e Namboole nga October 12/2012.
Cranes yeetaaga 2 - 0 okuggyamu Zambia