
NKULISAAYO Cranes e Ndola gye yakalubidde ku bakyampiyoni ba Afrika (Zambia) wadde nga baagikubye ggoolo 1-0 ku Lwomukaaga. Kati Cranes bw’eba yaakuyitamu okugenda mu za Afrika ez’e South Afrika omwaka ogujja, yeetaaga kuwangula 2-0 nga October 13 e Namboole.
Kisoboka
Obuwanguzi bwa ggoolo 2-0 e Namboole busoboka wadde nga si bwangu ku ttiimu nga Zambia. Ekisooka, abazannyi balina okwekkiririzaamu n’obutazannyisa kiwuggwe. Nga bwe baazannye e Zambia nga tebatya bassita n’e Namboole bwe balina okukola. Omupiira guno balina okuguzannya ng’ogwa bulijjo naye bwe banaakulembeza eky’okuyitamu, bajja kukola ensobi nnyingi ggoolo zibaleme nga bwe gwali ku Kenya omwaka oguwedde.
Enteekateeka
Cranes ngitendereza olw’eryanyi lye yalaze kuba enteekateeka si y’eyabadde ennungi ennyo. Simeon Masaba yagyegasseeko ebula ennaku bbiri esitule, ng’ava e Buyindi okugezesebwa. Ku mulundi guno, FUFA etandikirewo okugiteekateeka ng’egizannyisa emipiira egy’omukwano okusinga amaanyi okugaggyayo ng’ebula wiiki omupiira gubeewo.
Gavumenti
Obuwagizi minisita Bakkabulindi bwe yalaze Cranes ng’egenda e Zambia, twagala abutandikirewo kati ng’akuba Pulezidenti Museveni akaama k’okusuula ttiimu y’eggwanga omukono. Cranes yeetaaga okugenda amangu mu nkambi n’abazannyi ab’awaka. Omutendesi Bobby naye yeetaaga ssente okulabanga emipiira egirimu bapulofeesono be ebweru.
Abazannyi abato
Geoffrey ‘Baba’ Kizito yazannye bulungi omupiira gwe ogwasoose mu Cranes. Ono ne bamusaayimuto banne, ‘Jjajja Waalu’ ne Moses Oloya baalaze Bobby nti alina kukulembeza mutindo gwa muzannyi okusinga obumanyirivu. Mu kifo ky’okutwala Patrick Ochan abugumya akatebe, kisingako okutwala abato nga Steven Bengo, Kizito Luwagga oba Gift Ali bayigire ku Wasswa, Mawejje ne Serumaga. Ochan aba tagasa nga wa katebe okuggyako okutondowala.
Abawagizi
Bannayuganda balina omulimu gumu gwa kweyiwa Namboole nga October 13 bawe Cranes enduulu ereme kwekwasa kirala. Entalo mu liigi zireme kuyingizibwa mu Cranes kuba zigijja ku mulamwa. Olubimbi olwammwe lwa kuwagira Cranes eyigge ggoolo 2-0.
kkawuma@newvision.co.ug 0772371990
Cranes tesumagira