TOP

Bobby asinzeemu bateebi mu gw'okudding'na ne Zambia

Added 13th September 2012

OMUTENDESI wa Cranes, Bobby Williamson asaanye awagale abateebi abawerera ddala kkumi nga bukyali kuba kyeyolese nti Zambia esobola okuteebwa ggoolo eziwera e Namboole.

OMUTENDESI wa Cranes, Bobby Williamson asaanye awagale abateebi abawerera ddala kkumi nga bukyali kuba kyeyolese nti Zambia esobola okuteebwa ggoolo eziwera e Namboole.

Saagala kunenya muzannyi yenna ku mupiira Cranes gwe yazannye, kuba wadde Zambia yazannye bubi, yabadde yeetaaga obuwanguzi obwa buli ngeri.

Mba kubeera Bobby, ttiimu gye nandiyungudde e Namboole yandibaddemu; Onyango, Masaba, Walusimbi, Hassan Wasswa, Mwesigwa, Bagoole, Diego Kiiza, Mawejje, Massa, Okwi ne Sserumaga.
 
Nga Zambia bwe yazannye obubi omwayo, ne Cranes esobola okuzannya obubi e Namboole olwa puleesa naye abatendesi baffe basaanye bajjuzeemu bateebi okuva ku nnamba mukaaga, ggoolo zituleme bulemi.
 
Abamu bayinza okwebuuza lwaki mpandiise bwenti. Ensonga eri emu nti buli lw’oteeba ggoolo ezisukka ebbiri, omulabewo atya n’okukulumba. Omugenzi Paul Hasule y’enkola kwe yatendekera omupiira.
 
Ku nsonga za liigi eziri wakati  wa FUFA ya Mulindwa ne FUFA ya Muwema, oluvannyuma lwa FUFA ya Mulindwa okuleeta ssemateeka alimu akawaayiro akabakuumira mu buyinza okutuusa mu 2013, liigi ya Mulindwa y’ejja okuba entuufu.
 
Singa FUFA ebadde yayisa ebbago eryagabibwa mu ttabamiruka, FUFA eyatondeddwaawo Muwema ye yandibadde entuufu kyokka ekyo si bwe kiri.
 
Kiraabu zonna zisaanye zeewandiise ne FUFA ya Mulindwa kuba be balina obuyinza bw’omupiira mu mateeka kyokka Mulindwa asaanye akozese abamu ku bakozi ba USL.
 
Ng’oggyeeko Kavuma Kabenge ne Ebil Segawa abaakaligibwa, Mulindwa asaanye akome ku kumegga n’okuluma, abakozi nga Paul Kabaikaramu, James Ssenkandi n’abalala abakozese.
 
Singa abateeka ensimbi mu liigi ng’aba Supersport baabulira omupiira gwaffe, nja kusinga kunenya Mulindwa, Kabenge ne Muwema, kuba abantu abeeyita ab’omupiira ate mutuuka mutya okuziba amaaso?
 
Bannamupiira mwenna nga n’abaamawulire mwe mbatwalidde, mbasaba Cranes muleme kugiyingiza mu byabufuzi byammwe tusooke tuzannye Zambia nga October 13.
 
kateregaya@yahoo.com: 0782077016

Bobby asinzeemu bateebi mu gw’okudding’na ne Zambia

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...