TOP

FUFA eyise Sudan erage Bobby abazannya Zambia

Added 25th September 2012

FUFA eyise Sudan ezannyemu ne Cranes ogw'omukwano okulaba abazannyi ‘abamalako’.

Bya Hasfah Ssonko

October 7 e Namboole:

Uganda - Sudan

October 13 mu za Afrika:

Uganda - Zambia
 
Ebisale:
 
Ekirussia: 40,000/-.

Awabikke: 75,000/-

Paviriyoni: 120,000/-.
 

Steven Bengo (ku kkono), Johnson Bagoole ne Hassan Wasswa mu kutendekebwa kwa Cranes e Namboole.
 
NG’OMU ku kaweefube w’okulonda ttiimu eneewumiza Zambia nga October 13 e Namboole, FUFA eyise Sudan ezannyemu ne Cranes kisobozese omutendesi Bobby Williamson okulaba abazannyi ‘abamalako’.
 
Omupiira gwa Sudan gwakubaawo ku Ssande nga October 7 e Namboole. “Sudan yaakumpa ekifaananyi ekimala okulaba abazannyi bange naddala abalina obuvune naddala eri Massa, Umony ne Mudde.  Zambia tulina okugiwangula,” Bobby bwe yategeezezza. 
 
Eggulo, abazannyi abasinga tebatendekeddwa na Cranes e Namboole nga baabadde na kiraabu zaabwe ezaabadde zeetegekera okuggulawo liigi ya FUFA olwaleero.
 
Minisita mu kafubo
Nga Bannayuganda bakyagenda mu maaso okuyomba olwa FUFA okupaaza ebisale by’omupiira gwa Zambia, kyategeezeddwa nga minisita w’Ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi bwe yasisinkanye abakungu ba FUFA eggulo okumunnyonnyola ku ngeri gye baatuuse ku bisale bino.
 
Ensonda mu FUFA zaategeezezza nti ensisinkanyo eno yabadde ku Pope Paul Memorial Centre eggulo akawungeezi. 
FUFA yalangiridde ebisale by’omupiira guno nga tikiti esookerwako ya 40,000/- (Ekirussia), 75,000/- (awabikke) ne 120,000/- paviriyoni.
 
Uganda yeetaaga okukuba Zambia ggoolo 2-0 okuyitamu okuzannya empaka za Afrika e South Afrika omwaka ogujja.

FUFA eyise Sudan erage Bobby abazannya Zambia

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...