TOP

KCC ne Villa balwanira 'Independence Cup'

Added 9th October 2012

ABATENDESI George Nsimbe owa KCC ne Paul Nkata owa SC Villa leero (Lwakubiri) buli omu lw’asooka okulaga munne ky’alinawo bwe banaaba battunka mu kikopo ky’Ameefuga mu kisaawe e Nakivubo.

Bya HAMID KALANZI NE HUSSEIN BUKENYA

Mu Independence Cup:

KCC - Villa (Nakivubo), 10:30

ABATENDESI George Nsimbe  owa KCC ne Paul Nkata owa SC Villa leero (Lwakubiri) buli omu lw’asooka okulaga munne ky’alinawo bwe banaaba battunka mu kikopo ky’Ameefuga mu kisaawe e Nakivubo.

KCC tennaloza ku buwanguzi mu liigi ng’emipiira ebiri gye yaakazannya eremaganye  nga tennateebayo wadde ggoolo kyokka ng’erina bassita okuli Brian Umony, Yuda Mugalu ne Tony Odur.

Villa nayo ekyali mu kiyongobero kya kukubwa abagole aba Aurum Roses (1-0) mu liigi ku Lwokutaano.

“Omupiira guno mukulu kuba gujjidde mu kaseera nga tunoonya buwanguzi busooka kwe tuba tuzimbira,” Nsimbe bw’agamba. Nkata naye  agamba nti omupiira guno mukulu nnyo eri ttiimu ye.

Twagala kuzimbira oluvannyuma lwa , leero erinze SC Villa ya Paul Nkata babinkane mu kikopo ky’amefuga. 

Omutendesi wa KCC George Nsimbe agamba wadde ttiimu zombi sizoni ewedde tezaawangulayo kantu konna, KCC yesinga okwetaaga obuwanguzi  kuba Villa yawangulayoko mu liigi ate KCC tenaloza ku sanyu lyonna ate nga n’ekikopo bagala kukisitukiramu. 

“Omupiira guno mululu nnyo ate gujidde mu kiseera ekituufu nga tunoonya buwanguzi busooka mu sizoni. Twagala kuwangula kikopo kino kwetuba tuzimbira.  Engeri gyetwegesemu,  tumaze okusala amagezi gonna agatuwanguza” Nsimbe bweyagambye. 

Kyokka Nsimbe yelabudde abazannyi be nti tebalina kunyooma Villa olw’okweyawulamu bayingire ekisaawe balina nsweera bayigge ggoolo zibawanguza. 

Ye Nkata agamba nti KCC ebasinga abazannyi abalungi naye agyetegekedde kuba ayagala kikopo. 

KCC ne Villa balwanira ‘Independence Cup’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...