Bya Basasi Baffe
Lwamukaaga mu za Afrika:
Cranes - Zambia (Namboole)
Abazannyi ba Cranes nga basaba mu kutendekebwa. Ku ddyo ye Bobby.
We bwatuukidde mu ttuntu ly’eggulo (Mmande) tikiti z’okulaba omupiira gwa Cranes ne Zambia ku Lwomukaaga, ng’abawagizi tebazirabako ku matundiro gaazo agaalangirirwa FUFA.
Eggulo tikiti lwe zaatandise okutundibwa eri abawagizi kyokka tewali we zaalabiddwaako.
Ku ssundiro ly’amafuta erya City Oil Bombo Road, ku makya g’eggulo, abantu 15 abaakedde okuzinoonya, baakonkomadde nga tebalaba tikiti sso nga ne ku masundiro amalala okuli; Total Jinja Road, Gapco Ben Kiwanuka, Total Nakivubo wonna tewaabadde wadde tikiti eri ku mudaala!
Kitunzi wa FUFA, Rogers Byamukama yategeezezza nti baakedde mu lukiiko bateese ku ngeri gye banaatundamu tikiti zino.
Mu kutendekebwa e Namboole, Denis Onyango ne Isaac Isinde batendekeddwa ne ttiimu eggulo nga Emma Okwi, Sula Matovu, Henry Kalungi ne Patrick Ochan basuubirwa okutuuka ku nkya ya leero (Lwakubiri).
Omutendesi Bobby Williamson yategeezezza nti ku mutindo ttiimu gw’eyolesezza, Zambia tejja kubawona kuba buli muzannyi mu nkambi ali mu mbeera nnungi.
Ttiimu ya Zambia yayingidde enkambi ku Ssande mu kibuga Johannesburg okwetegekera ensiike ya Cranes ng’esuubirwa okutuuka mu ggwanga essaawa yonna.
Cranes ejjudde: Zambia ejja kutuwuliramu - Bobby