TOP

Buli eyeesaasira Bobby amusuule ku Zambia

Added 9th October 2012

NGA Cranes eyingira okutendekebwa okwa kaasammeeme nga tennattunka na Zambia ku Lwomukaaga e Namboole, nzudde ensonga bbiri ezeetaagisa okunogerwa eddagala mu bwangu bw’eba yaakufuna ggoolo 2-0 ezigyetaagisa okuyitamu.

NGA Cranes eyingira okutendekebwa okwa kaasammeeme nga tennattunka na Zambia ku Lwomukaaga e Namboole, nzudde ensonga bbiri ezeetaagisa okunogerwa eddagala mu bwangu bw’eba yaakufuna ggoolo 2-0 ezigyetaagisa okuyitamu.

Enzannya y’ekisaazisaazi

Cranes ng’ewangula Kobs 2-0 ku Ssande, nayongedde okwekkenneenya  obunafu mu nzannya  yaayo. Enzannya y’ekisaazisaazi nasinze kugiraba mu bateebi Geoffrey Massa, Brian Umony ne Mike Serumaga. 

Kisoboka okuba nga kiri ku bwongo olw’engeri gye batalina kuvuganya kwa maanyi ku nnamba naye kikosa ttiimu era kiteekeddwa okusalibwa amagezi  okuviira ddala ku bukodyo omutendesi Bobby bw’ategese okulumbisa Zambia.  

Bobby yakikoonyeeko ku Ssande nti, “ Batera okugayaalirira ne basala ku sipiidi ekiviirako omudigido gwa ttiimu yonna okufa naddala nga tukulembedde omuzannyo.”.

Bwe tuba baakufuna obuwanguzi bwa ggoolo 2-0 ku Zambia, Massa ne banne bateekeddwa okussa puleesa ku bazibizi ba Zambia baleme kwegazaanya mu kuzimba ennumba zaabwe n’obutajja mu maaso kuyamba ku bateebi baabwe.

Singa kino kibaawo, bajja kutubeerera ba bulabe kuba ggoolo emu Zambia gy’eteebamu, eyongera okuzibuwaza ekibalo kya Cranes n’okuzimba ekiwuggwe mu bazannyi ne kitta n’omudigido kwe bazannyira.

Ekisenge

Si kya nkiso nti ekisenge kyaffe kiragaya naddala bukya Sekaggya ne Nestroy Kizito bannyuka kuzannyira Cranes. Henry Kalungi alina obusobozi okuziba eddibu lya Sekaggya naye tannayambibwa kimala okuva mu bazannyi  banne n’abawagizi okusobola okuzimba omutima ogwekkiririzaamu.

Ensobi y’abawagizi, ya kulabira Kalungi mu kisiikirize kya Sekaggya kye ndowooza nti kikoze kinene okumussaamu ekiwuggwe. Mu ngeri y’emu, omukuumi wa ggoolo, Denis Onyango, Simeon Masaba ne kapiteeni Andy Mwesigwa, abasinza obumanyirivu mu kisenge, tebakoze kimala kutebenkeza Kalungi, gwe ndaba nga gwe bafuula ekyekwaso ku buli nsobi ekolebwa mu kisenge.

Nga Bobby bwe yeesize Kalungi, kiteekeddwa okusensera mu bazannyi banne wamu n’abawagizi kubanga mu buttonde, ekikula kye (Kalungi) mukulembeze ate ng’asoma bulungi omuzannyo ssaako okuzannya ng’azimbirwako ennumba za ttiimu. Olw’obutamwesiga, awalirizibwa okumala gazzaayo mipiira ekikontana n’enzannya ye ey’okuguwummuza agutandikire abawuwuttanyi.

Okutwalira awamu enzibira ya Cranes ng’ezannya Kobs nagirabyemu obutiitiizi olw’engeri abawuwuttanyi Geoffrey ‘Baba’ Kizito ne Hassan Wasswa gye bamalira amaanyi gaabwe agasinga mu kuzibira ne bwe waba tewaliiyo bateebi ba bulabe. Tulina okulumba ennyo

mubirua2002@yahoo.co.uk 0774054636

Buli eyeesaasira Bobby amusuule ku Zambia

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...