TOP

Bobby ali mu kattu: Gamwesibye ku Baba, Mawejje ne Serumaga

Added 12th October 2012

OMUTINDO abazannyi ba Cranes gwe baayolesezza mu kutendekebwa mu wiiki ebbiri ezisembyeyo, gulese Bannayuganda beebuuza abazannyi abanaatandika ku mupiira gwa Zambia.

Bya WILLIAMS KIBANGA

OMUTINDO abazannyi ba Cranes gwe baayolesezza mu kutendekebwa mu wiiki ebbiri ezisembyeyo, gulese Bannayuganda beebuuza abazannyi abanaatandika ku mupiira gwa Zambia.

Abamu beewuunaganya oba omutendesi Bobby Williamson anaazannyisa ttiimu y'emu eyakubwa Zambia gye buvuddeko oba anaazannyisa eyawuttula Congo Brazaville ggoolo 4-0. Naye kirabise nga Bobby bw'ayinza okuteekamu abawuwuttanyi abawerako okuggumizza amakkati.

Mu ggoolo; Hamza Muwonge, Abel Dhaira ne Dennis Onyango be baliyo. Wadde nga Onyango yafuna kaadi nga Cranes eri e Zambia, talina kuvuganya kwa maanyi ku nnamba eno era sisuubiramu mulala kumusooka mu ggoolo.

Mu kisenge; Kapiteeni Andy Mwesigwa, Henry Kalungi, Simeon Masaba, Dennis Guma, Edward Ssali, Isaac Isinde ne Habib Kavuma be baliyo. Enzannya ya Kalungi ku mupiira gwa Senegal, Congo Brazaville ne Zambia yali tematiza kyokka kirabika Bobby amulinamu obwesige. Mu nnamba bbiri Bobby abadde azannyisa nnyo Guma mu mipiira gy'okwegezaamu.

Bwe baali bazannya ttiimu y'abali wansi w'emyaka 20, Guma ye yalimu era bwe baazannya n'ey'abali wansi w'emyaka 23, Guma yazannya. Omutindo Guma gw'ayolesezza mu mipiira gino gyombi tegumuweesa nnamba eno nga Masaba waali.

Ekisenge ekijjuvu nkisuubiramu Mwesigwa, Kalungi, Masaba ne Walusimbi.

Abawuwuttanyi; Kino ky'ekitongole Bobby w'agenda okusinga okulaga obukugu ku mulimu gwe kuba kirimu abazannyi abawerako ate ng'abasinga balungi. Patrick Ochan, Tonny Mawejje, Chrizestom Ntambi, Musa Mudde, Mike Sserumaga be balimu. Kuno kw'ossa Sula Matovu, Geoffrey 'Baba' Kizito, Hassan Wasswa, Moses Oloya ne Dan Wagaluka.
Bobby alina okulondako basatu oba bana okusinziira ku kakodyo k'anaaba asazeewo okukozesa. Sserumaga y'omu ku bazannyi Bobby batatuuza singa baba balamu. Kizito 'Baba' okuva ku mupiira gwa Ghana e Nakivubo ogw'abali wansi w'emyaka 20, yalaga nti asobola okuzannyira Cranes kye yaddamu n'e Zambia. Baba asobola okugaba paasi empanvu ne zituuka ate asaasaanya omupiira kumpi mu buli kasonda era nsuubira guno agenda kugutandika ng'ali ne Wasswa, Mawejje ne Oloya.

Abateebi; Emma Okwi, Geoffrey Massa, Hamis Kiiza ne Brian Umony. Sipiidi ya Massa yeetaagisa nnyo mu mupiira guno okuteeka abazibizi ba Zambia ku bunkenke n'okusaggula ekkubo Okwi oba abawuwuttanyi ba Cranes w'ebayinza okuyita.

Okwi y'abadde aduumira olugoba oluteebi gye buvuddeko era nsuubira nti ne ku mulundi guno agenda kukikola. Massa ne Okwi be nsuubira okutandika mu mupiira guno batuyiggire ggoolo.

Bobby ali mu kattu: Gamwesibye ku Baba, Mawejje ne Serumaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...