Bya H. BUKENYA NE H.KALANZI
Magumba
OMUTINDO omuwuwuttanyi Hakim Magumba gw’ayolesa mu ttiimu ye eya SC Villa, gumuwaze n’asaba omutendesi Bobby Williamson amuyite ku Cranes egenda okuzannya CECAFA ezitandika nga November 24.
Magumba, eyakoma okuzannyira Cranes ng’ettunka ne Botswana e Nakivubo mu 2006, agamba nti omupiira akyagwewulira era alinze mukisa ku Cranes gumuweebwe agiyambe.
“Cranes nkyasobola okugiyamba bwe bampa omukisa,”Magumba bwe yagambye.
Yaakazannyira Villa emipiira ena okuli ogwa Police, Entebbe n’ogwa Vipers ssaako ogwa Victoria ku Lwokutaano mw’ayoleserezza omutindo ogucamudde abawagizi.
Gye buvuddeko, Bobby yategeeza nga bw’agenda okuwa abazannyi b’awaka n’abo abali ku ttiimu y’abatasussa myaka 20 bazannye mu CHAN ne CECAFA.
Kino kirese Cranes ng’eyimiridde ku Steven Bengo (SC Villa), Mike Serumaga (Proline) ne Joseph Mpande (Vipers)
ng’abawuwuttanyi abaliikiriza abateebi.
Mu ngeri y’emu, Bobby yasuubizza okuwa omuteebi Dan ‘Muzeeyi’ Sserunkuuma omukisa ku Cranes olw’omutindo gw’aliko mu Gor Mahia ey’e Kenya.
Hakim Magumba: Njagala nnamba ku Cranes ya CECAFA