Bya LWANGA KAMERE
Abawagizi abazze okuwagira ttiimu zaabwe e Nakivubo. Bulemeezi yasitukidde mu ky’amaza bwe yakubye Buweekula (1-0)
1. Emipiira 77 gye gyazannyiddwa mu mpaka zonna okuva lwe zaatandika mu May.
2. Buweekula ne Bulemeezi, ezaazannye fayinolo, zaali mu kibinja kimu (‘C’). Ogwasooka Bulemeezi yalemagana (0-0) awaka, ate nga badding’anye, Buweekula n’ewangula (1-0).
3. Rogers Kalyango owa Bulemeezi ye yasoose okufuna kaadi eya kyenvu ku fayinolo eyalabiddwa nnamungi w’omuntu.
4. Baddiifiri abaalamudde omupiira guno okwabadde Frank Jingo, Bob Kikabi ne Hussein Jjagwe baasoose kusibirwa bweru wa kisaawe okutuusa abateesiteesi lwe bazze ne baboogerera. Abaabadde ku mulyango baabadde tebabamanyi.
5. Abayizi ba St. Juliana be baasanyusizza ‘Beene’.
6. Obukadde bw’ensimbi 60 bwe bwasoloozeddwa ku fayinolo eno.
7. Ssaabasajja yavugiddwa mujaasi wa UPDF nga yeetooloola ekisaawe okubuuza ku bantu be olw’ebyokwerinda.
8. Waabaddewo akasattiro mu kugaba ekikopo, ekisaanikira kyakyo bwe kyagaanyi okusaanukuka abeebyokwerinda bakebere ekiri munda.
9. Omuzannyi wa Kyaggwe, Rajab Jjooga eyalidde eky’obuteebi ne ggoolo 10, yasitukidde mu kyapa ky’ettaka.
10. Guno gwe mulundi ogusoose Ssaabasajja obutakwata bazannyi, baddiifiri ssaako abakungu ba ttiimu mu ngalo ng’omupiira tegunnatandika bukya empaka zino zitandika mu 2004. Obulwadde bwa Ebola bwe bwalemesezza.
Ebikulu ebyabadde ku fayinolo y’amasaza