TOP

Bobby yeekengedde Tanzania ku semi za CECAFA

Added 6th December 2012

OMUTENDESI wa Cranes, yeekengedde ensiike yaabwe ne Tanzania n’abangula abazannyi obukodyo bw’okusimula peneti.

Bya Basasi ba Bukedde


Hassan Wasswa, kapiteeni wa ttiimu y’asuubirwa okutangira abawuwuttanyi ba Tanzania. Ku kkono ye muzibizi wa Tanzania, Shamri Kapombe.

Leero ku semi za Tusker CECAFA Cup:

Zanzibar - Kenya (Namboole), 10:00

Tanzania - Uganda (Namboole), 1:00

OMUTENDESI wa Cranes, Bobby Williamson yeekengedde ensiike yaabwe ne Tanzania n’abangula abazannyi be obukodyo bw’okusimula peneti.  

Leero, Cranes efaafaagana ne Tanzania ku semi za CECAFA ezisasulirwa kkampuni ya Tusker Malt Lager mu kisaawe e Namboole.

Mu kutendekebwa eggulo, abazannyi 3 bokka okuli; Nicholas Wadada, Said Kyeyune ne Moses Oloya be baalemeddwa peneti. Godfrey Walusimbi,  Isaac Isinde, Emmanuel Okwi, ‘Baba’ Kizito ne Denis Guma, Godfrey Ssentongo, Hamis Kiiza n’abalala baanywesezza ezaabwe. 

Gye buvuddeko Cranes yalemeddwa okuyitamu okuzannya mu za Afrika eza 2013 bwe yalemwa okuwangula Zambia mu peneti. Kino Bobby ky’atidde okuddamu nga balwana okweddiza ekikopo kya CECAFA, Uganda kye yaakawangula enfunda 12. 

Bobby atidde obuvune bwa Brian Umony, ataatendekeddwa ne banne eggulo. “Bangi bannumiriza nti sitendeka peneti nange kwe kukikola tuggyewo ebyekwaso,” Bobby bwe yategeezezza.

Ekisenge kya Cranes kinywevu:

Wadde nga Tanzania erimu abateebi babiri abasinga ggoolo mu mpaka zino okuli Mrisho Ngasa ne John Bosco (balina ggoolo 5), Bobby agamba nti mumativu n’ekisenge kye nti kisobola okutangira ennumba za ttiimu yonna gye bang’anga.

Bobby yeekengedde Tanzania ku semi za CECAFA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...