
Bya LWANGA KAMERE
Lwamukaaga ku fayinolo y’Ebika:
Ngeye – Mpeewo, 10:00
Okuyingira: 5000/- (Nakivubo)
LINAABA ssanyu na kubinuka nga Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi aggalawo emipiira gy’Ebika by’Abaganda egibumbujjidde emyezi etaano.
Bazzukulu ba Kasujja (Abengeye) n’aba Kiggye (Mpeewo) buli omu alaalise okuswaliza munne mu maaso ga Kabaka mu kisaawe e Nakivubo.
Ssaabasajja asuubirwa okutuuka mu kisaawe ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo ng’asuubirwa okwanirizibwa Katikkiro Ying. J.B Walusimbi, baminisita be n’abakungu abalala.
Enkambi ziggumidde:
Empeewo, esuubira okusabuukulula omujoozi gwayo omupya ogwagiweereddwa Cranimar Kalinda eyaliko RDC wa Kampala, eyogeza maanyi okumegga Engeye eyaakawangula Engabo eno enfunda essatu okuva empaka zino lwe zaddawo mu 1987.
Enkambi ya bazzukulu ba Kasujja nayo yazzeemu ebbugumu olw’omukiise wa Palamenti omukazi owa Kampala, Nabila Naggayi Ssempala okusuubiza ttiimu akakadde k’ensimbi singa bawawangula Engabo era abazannyi bonna bawera nkolokooto okufiirawo bafune obuwanguzi.
Abatendesi bawera:
Omutendesi w’Engeye, Paul Kiwanuka, agamba nti ttiimu ye agyesiga okutuuka ku buwanguzi leero baweze Engabo eyookuna. Engeye olukoba erusibidde ku kapiteeni waayo, Patrick Senfuka azannyira mu Kira Young ssaako Owen Kasule owa URA.
Mu ngeri y’emu, Fred Mutyaba atendeka Empeewo, ayagala kuwa Empeewo ekirabo kya Ssekukkulu ng’abaggyako ekikwa ky’obutawangula Ngabo okumala emyaka 62.
Ebyokwerinda binywedde:
Maneja w’ekisaawe ky’e Nakivubo, Ivan Lubega yasabye abantu bonna okugondera ebiragiro by’abakuumaddembe abateereddwaawo.
Beesunga kabaka: Ali ku fayinolo y’emipiira gy’ebika e Nakivubo