
Bya David KIBANGA NE LWANGA KAMERE
Ku fayinolo y’Ebika:
Engeye 2-0 Mpeewo
Mu gw’okubaka:
Engabi 29-28 Nnyonyi Nnyange
OLUVANNYUMA lw’okuwangula Engabo y’Ebika by’Abaganda, Bazzukulu ba Kasujja abeddira Engeye bakyeyongera okugwa mu bintu.
Omugagga Bulaimu Muwanga Kibirige (BMK) yabayiyeemu ekyeggulo akawungezi k’Olwomukaaga, mu wooteeri ye eya Africana n’abagattirako n’ebbaasa enzito.
BMK, era yabasuubizza okwongera okubayita okubakulisa obuwanguzi. Engeye yakubye Empeewo (2-0), ezaateebeddwa Tom Masiko, ne beggyako ekikwa ky’emyaka 20 nga tebaloza ku buwoomi bwa Ngabo. Baakoma okugiwangula mu 1992.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ye yakwasizza kapiteeni w’Engeye, Patrick Senfuka, Engabo wakati mu nnamungi w’omuntu eyabadde akuba enduulu n’okukooloobya ennyimba ebitasalako.
“Kino kye tukoze kikyali kituuza era njagala okubakakasa nti ate omwaka ogujja nze ng’enda okuteeka ssente mu kika kyaffe olwo tulyoke tulabe anaatwang’anga,” BMK bwe yategeezezza.
Abengeye era baasitukidde mu bikebe bya gaasi afumba, ne sseddume w’ente okuva mu bategesi nga bwe balinda ne ssente ezaabasuubizibwa omubaka omukazi owa Palamenti owa Kampala, Nabirah Naggayi Ssempala.
Emmamba Gabunga y’ebadde n’Engabo gye yawangula ng’ekubye Olugave mu peneti.
Mu ngeri y’emu, bazzukulu ba Nsamba Abengabi, baasitukidde mu Ngabo y’okubaka oluvannyuma lw’okuwangula Ennyonyi Ennyange ku bugoba (29-28), era baabuze okufa essanyu nga Kabaka abayozaayoza.
Engeye eri mu kintu