
Bya SILVANO KIBUUKA
EYALIKO omuggunzi w'eng’uumi (mu by'ensimbi), Peter Mulindwa 'Kojja', agambye nti abakubi ba Uganda obutalya bulungi kye kittattanye ekitone kyabwe eky’okukuba ebikonde.
Mulindwa, agambye nti abazannyi bano, beetaaga abantu ababateekamu ssente basobole okulya obulungi nga kino kye kimu ku bisinga okuyamba Abazungu kubanga balya bulungi okuviira ddala mu kutendekebwa.
Mulindwa, yazannyako n'eyaliko kyampiyoni mu babinywera, Frank Bruno mu 1981 ne 1983, yabadde ku bikonde Munnayunganda Charles Muwanga gye yakubiddwa Omutanzania Amir Sungura ekikonde tonziranga mu lukontana olusooka, abawagizi ne bakoteka emitwe.
Muwanga, yagambye nti yabadde tamanyidde ddala lwaki yakubiddwa kubanga eryanyi yabadde ekyalyewulira wabula n'ategeeza nti ogwo gwe muzannyo.
Wabula yagambye nti Sungura yabakweka likodi ye ey'enzannya munaana nga yawangulwamu lumu lwokka.
Bamukubye ne yeekwasa