
Bya D. Kibanga ne H. Ssonko
EBIZIBU bya Sam Ssimbwa tebinnaggwa! Nga bw’akyatawaana n’ebizibu by’okutereeza amaka ge, ssentebe wa Victoria University, Simo Dubajic amufuumudde ku mulimu ne banne abalala basatu.
Okusinziira ku bbaluwa Bukedde gye yalabyeko, Ssimbwa ne banne Steven Bogere (omumyuka we), Abu Kigenyi (ow’abakwasi ba ggoolo) ssaako Omuzungu abadde abakulira Ivan Zoric, enzaalwa y’e Serbia baaweereddwa okutuuka nga January 31, 2013 nga banoonyezza ttiimu endala ze batendeka.
Wabula Ssimbwa waakusooka kuliyirirwa kuba endagaano ye gye yassaako omukono ku ntandikwa ya sizoni eno, ebadde tennaggwaako.
Ensonda mu Victoria University zaategeezezza nti Dubajic yayiwa omusimbi oguli eyo mu bukadde bw’ensimbi 200 mu ttiimu eno ng’asu-ubira ebirungi nfaafa by’atatuuseeko kwe kusalawo okusattulula ttiimu.
Kigambibw anti n’abazannyi 10 baakusalwako kuba yakizudde nga ssente ze yabagula, nnyingi nnyo ku mutindo gwabwe.
Mu ngeri y’emu, emivuyo egiri mu mupiira gwa liigi ya Uganda egigaanyi kkampuni okuteeka ssente mu ttiimu ye, nagyo givuddeko Omuzungu okwekyawa.
Ebimu ku bituuse ku Ssimbwa:
1. Mu September, bafuna obutakkaanya ne mukyala we Sophie Nantongo ku nsonga ezeekuusa ku by’okubatiza omwana.
2. Mu October, mukyala wa Ssimbwa omukulu akomawo ne yeddiza amaka Ssimbwa ne Sophie ge baalimu.
3. Mu October, muka Ssimbwa, Samalie yeesogga amaka bafumbe ne Sophie maka gamu nju emu.
4. Mukyala wa Sophie addukira ewa nnyina wa Ssimbwa amuyambeko okutereeza amaka.
5. Oluvannyuma era mu October, Ssimbwa ne mukyala we Sophie baawukana Sophie bwe yattika eby’omu maka.
6. Ssimbwa awummuzibwa ku mulimu mu November atereeze amaka ge.
7. Famire ya Ssimbwa emiwa ennaku 14 nga bazze mu nju y’emu.
..................................................................................................................................................................
Ebirala ku Sam Ssimbwa.....
"Ssimbwa komawo" Victoria University evuyizza Omuzungu n'alaajana
Ssimbwa akomyewo na bukambwe mu Victoria University
Ebibadde mu CECAFA: Ssimbwa aswala ne Somalia, Nmboole afuuka ekiraalo
Famire ya Sophie etakubikidde Ssimbwa olw'okumwebalama
Ensimbi zongedde okutabula Ssimbwa ne Nantongo
Abafuba okutwawula musembye nakyo
Omuyimbi Sophie Nantongo atabuse ne bba agaanye okubatiza omwana we
Sophie Nantongo avudde ewa Ssimbwa
Muka Ssimbwa ow'empeta akudaalidde Sophie Nantongo
....................................................................................................................................................................
Victoria University ezzeemu okufuumuula Sam Ssimbwa ku butendesi