TOP

Kampala University e Ggaba ewangudde sseddume w'ente

Added 22nd December 2012

ABAYIZI mu ttabi lya Kampala University ekkulu e Ggaba, batutte sseddume w’ente oluvannyuma lw’okusinga bannaabwe okuva mu matabi omuli ery’e Luweero, Jinja ne Masaka mu mpaka z’emizannyo.

Bya Robert  Masengere

ABAYIZI mu ttabi lya Kampala University ekkulu e Ggaba, batutte sseddume w’ente oluvannyuma lw’okusinga bannaabwe okuva mu matabi omuli ery’e Luweero, Jinja ne Masaka mu mpaka z’emizannyo.

Baavuganyizza mu mupiira ogw’ebigere n’okubaka, Volley Ball, Basket Ball, embiro, Hand Ball, Table Tennis n’emirala egyabumbujidde ku ssomero lya Kimaanya Blessed Heart. 

Baafunye obubonero  73 mu mizannyo gyonna ne baddirirwa ab’e Luweero abaafunye 55 nga bano baafunye kimeeme w’embuzi. Ab’e Luweero era be baatutte ekikopo ky’omupira ogw’ebigere bwe baawangudde ab’e Ggaba ku ggoolo  2-1.

Ab’e Masaka be baakoobedde n’obubonero 33 mu mpaka ezaatuumiddwa ‘Inter Compus Games ‘ ezaategekeddwa okuteekateeka abayizi b’ettendekero lino  olw’empaka z’emizannyo ezigatta University  z’omu buvanjuba bwa Afrika ezisuubirwa okubaawo mu February wa 2013.

Kampala University e Ggaba ewangudde sseddume w’ente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...