TOP

URA eyongedde okuvumbeera

Added 9th January 2013

OLUTALO lw’okukwanira entikko ya FUFA Super League lweyongedde okunyiinyintira oluvannyuma lwa KCC ne Vipers okuwangula emipiira gyazo eggulo.

Bya basasi baffe

Eggulo mu liigi:

KCC          2-1  Water

URA         0-0  Police

Vipers     3-0   Victors

Entebbe 1-1  BIDCO

Masaka  1-0  A. Roses

OLUTALO lw’okukwanira entikko ya FUFA Super League lweyongedde okunyiinyintira oluvannyuma lwa KCC ne Vipers okuwangula emipiira gyazo eggulo.

KCC, yasiitaanye okumegga Water (2-1) mu kisaawe e Nakivubo n’essa Vipers ekulembedde liigi ku puleesa. Vipers nayo yawuttudde Victors (3-0) mu kisaawe e Buikwe.

Tonny Odur yateebedde 

KCC ey’obuwanguzi oluvannyuma lwa Joseph Kayiira okuteebera Water ey’ekyenkanyi n’asazaamu eya Jimmy ‘Kacanga’ Kakooza. KCC yawezezza obubonero 28 ate Vipers eri ku 30.

Hassan Wasswa eyaguliddwa obukadde 25, teyazannye. 

E Lugazi, URA yayongedde okuvumbeera bwe yalemaganye ne Police (0-0) mu mupiira ogwasoose nga Ibrahim Kirya abadde amyuka Alex Isabirye ali ku katebe.

Oluvanyuma lwa ttiimu biri ezisinga okuvuganya kukikopo okuwangula emipiira gyazzo  KCC yawangudde Water 2-1 ate Vipers newutula Victors 3-0 nelemera ku ntiiko ng’esinga KCC obubonero bubiri bwokka n’omupiira gumu. 

Tonny Odur yayongedde okweliisa enkuuli mukutebera KCC bweyagitebedde ggoolo eyokubiri  nga ayongera ku ya James Kakooza (Kachanga)  mukitundu ekisooka. Odur kati awezezza ggoolo 10 emabega wa Brain Umonyi atakyali mu liigi ya Uganda.

URA eyongedde okuvumbeera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...

Kamuze ng’aziikibwa.

Owa LDU asse omutuuze lwa k...

ABAVUBUKA abaabadde batambula mu ssaawa za kafiyu, owa LDU abakubyeemu amasasi ne gakwatako omu n'afa. Ivan...

Lukwago

Ffamire ya Lukwago etidde o...

FFAMIRE ya Loodi Meeya Ssaalongo Erias Lukwago eraze okutya nti obulwadde obumuluma bwandiba nga bwekuusa ku mbeera...