TOP

Wooteeri zibanja FUFA obukadde 250-Gabeesibye

Added 10th January 2013

ABAKUNGU ba FUFA entuuyo bazisaza bibatu lwa bbanja lya bukadde 250 ezibabanjibwa wooteeri ezaasuza ttiimu wamu n’abakungu mu mapaka za CECAFA ezaakomekkerezeddwa omwezi oguwedde.

Bya Basasi baffe


ABAKUNGU ba FUFA entuuyo bazisaza bibatu lwa bbanja lya bukadde 250 ezibabanjibwa wooteeri ezaasuza ttiimu wamu n’abakungu mu mapaka za CECAFA ezaakomekkerezeddwa omwezi oguwedde.

Omukungu wa FUFA nga ye yali ssentebe w’olukiiko olwategeka CECAFA, Ying. Moses Magogo agamba nti wooteeri n’abantu ssekinnoomu babanja ng’entabwe yava ku ssente ennyingi ze baayiwa mu mpaka zino nga basuubira okuzifuna naye ne kitasoboka.

FUFA yaasaasaanya obukadde 750 ate n’ekung’aanya obukadde 514 ekigisudde mu mabanja. Singa tesasula ssente ezo, yaakutwalibwamu mbuga. Ezimu ku wooteeri ezaakozesebwa mu CECAFA kuliko; Sports View Hotel e Kireka, Sky Hotel e Naalya, Sojovalo Hotel, Rubaga Road n’endala.

Magogo yakiikidde abawagizi abataalaba mipiira ensingo n’agamba nti kyavaako tikiti z’emipiira okuzigabira obwereere.

Aba FUFA bateesa:
Magogo yategeezezza nga FUFA bw’eri mu nteeseganya n’abaddukanya wooteeri ezo babaweeyo ku budde  basobole okubasasula. “Waliwo ebyeyongera mu bajeti yaffe nga tetusobola kubyewala.

Naye tuli mu kunoonya ssente tuzisasule”, Magogo bwe yagambye.

Villa ya Muwema teyaka:
Eggulo Villa yalemaganye ne Maroons (1-1) mu liigi ya USL e Nakivubo.

Wooteeri zibanja FUFA obukadde 250-Gabeesibye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyagulanyi ne Kibalama lwe baatongoza ekibiina kya NUP.

Bwino omulala ayiise ku bya...

BWINO omulala ayiise ng’abaali bakulira ekibiina kya NUP okuli eyali Pulezidenti waakyo, Moses Nkonge Kibalama...

Bambega ba poliisi bazizza Nuwashaba e Masaka gye yasaliddeko omwana Kyamagero omutwe.

Ssenga Meran Namatovu akwat...

EKITONGOLE ky'amagye ekikessi kikutte omukazi ateeberezebwa okupangisa omuvubuka eyasazeeko omwana omutwe n'agutwala...

Omugenzi Kaweesi

Munnamagye aleese bwino ku ...

MUNNAMAGYE eyadduka ayogedde ebyama ku batta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi ne Joan Kagezi amagye...

Abamu ku bamulekwa nga bateeka ekimuli ku ssanduuko y’omugenzi Batte (mu kato). Tunuza kkamera y’essimu yo ku kalambe akali ku kifaananyi olabe vidiyo.

Poliisi ezudde bokisi omuli...

EBIPYA bizuuse ku ttemu eryakoleddwa ku ddereeva wa sipensulo, Christopher Batte ow’e Seeta eyattiddwa abaamupangisizza....

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...