MUGANDA wange James Mubiru, yantadde ku nninga munnyonnyole minisita w’ebyemizannyo Jesica Alupo, bw’agenda okumalawo obukubaagano wakati wa FUFA ne USL ku nsonga za liigi.
Bangi bwe tukola omulimu gw’amawulire bazze ensonga eno bagitaputa kifuulannenge.
Muwandiisi munnange Fred Kateregga, mu Bukedde ku Lwokuna, yategeezezza nti obutakkaanya busibuka ku mulugube gwa FUFA eyazimba omutima nga USL ekutudde ddiiru ya SuperSport.
Kino nzikiriganya nakyo naye era minisita Alupo asaanye atunuulire enjuyi zonna; kirabu ez’e-njawulo, abantu ssekinoomu ne kkampuni eziyimirizaawo kiraabu kuba nabo balina kinene kye bassaamu.
FIFA bwe yabadde eyanukula Francis Lubanga (omuwandiisi w’enkalakkalira mu ofi isi ya Alupo), yakkaatirizza nga bw’etasobola kwetaba mu nteeseganya ezo kubanga ensona yagonjoolwa dda.
“Tukwebaza minisita olw’omutima ogulumirirwa omupiira gwa Uganda, naye nga tuli wamu n’abakwatibwako omupiira gwa Uganda, ensonga eno twagisonjola mu ssemateeka FUFA gwe yayisa gye buvuddeko.
Tumanyi liigi emu mu Uganda, eya FSL. USL baatwesamba era tebalina kakwate ku mupiira mu Uganda,” bwetyo ebbaluwa y’omuwandiisi wa FIFA, Jerome Valcke bw’esoma.
Nze ndaba nga kanaaluzaala ava mu butakkiriza byava mu ttabamiruka wa FUFA ow’omwaka oguwedde.
Ttabamiruka mugeraageranya ku palamenti eyisa amateeka okutambulizibwa eggwanga.
Minisita Alupo naye bw’anaasambajja ebyavaamu, ejja kuba nsobi nnene eyinza okwongera okunnyika omupiira. mubirua2002@yahoo. co.uk 0774054636.
Minisita Alupo yeetegereze ebyali mu ttabamiruka wa FUFA