TOP

ANI ASULA KU NTIKKO?: KCC egirwanira ne Vipers

Added 15th January 2013

EBISAAWE, eky’e Namboole ne Bugembe leero byandirema okusigaza omuddo nga KCC ne Vipers ezikyaddeyo zirwanira obubonero obusatu obuzisigaza ku ntikko ya liigi ya babinywera.

Bya HUSSEIN BUKENYA, STEPHEN MAYAMBA NE HAMID KALANZI

 

Leero mu liigi:

BIDCO - KCC, Kakindu

URA - Entebbe, Lugazi

Simba - Victors, Jinja

SC Villa - Kira, Nakivubo

Proline - Police, Lugogo

Victoria - Vipers, Namboole

Express - Water, Wankulukuku

 

EBISAAWE, eky’e Namboole ne Bugembe leero byandirema okusigaza omuddo nga KCC ne Vipers ezikyaddeyo zirwanira obubonero obusatu obuzisigaza ku ntikko ya liigi ya babinywera.

Oluzannya olusooka olwa liigi eno eya FUFA, lugundikira leero ku ttiimu zombi nga buli emu eyagala buwanguzi erumalireko mu kifo ekisooka singa endala ekubwa.

KCC yeeswanta

Batabani ba Loodi Meeya (KCC FC), abakulembedde, bakyalidde BIDCO e Jinja, etendekebwa Kefa Kisala, eyaliko omuzannyi waayo mu gy’e 90. Ekisinga okutiisa KCC, ye BIDCO okuba nga yasemba okuwangulirwa ewaayo e Kakindu mu  mu September. BIDCO erina okukuuma Tony Odur obutiribiri kuba y’emmundu ya KCC emmenye okuva Brian Umony bwe yagenda mu Azam FC ey’e Tanzania.

Vipers eri wazibu

Omupiira gw’olunaku guli mu kisaawe e Namboole nga Vipers FC, eya pulezidenti wa FUFA, Lawrence Mulindwa, ettunka ne Victgoria University, etendekebwa Sam Ssimbwa, eyawangulira Exopress ekikopo kya liigi sizoni ewedde.

Wadde Victoria tesobola kulinnya ku ntikko ng’ewangudde, obubonero obusatu bugiyamba okubeera n’essuubi ly’okumalako oluzannya olusooka ng’eri ku ntikko kuba ekyabuzaayo emipiira ebiri.

Villa eneesasuza?

Obusungu bwa SC Villa okuwangulwa Simba (2-1) wiiki ewedde esuubira kubumalira ku Kira Young etendekebwa George Ssimwogerere.

ANI ASULA KU NTIKKO?: KCC egirwanira ne Vipers

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.