TOP

Express ewera: 'Vipers ekikopo ekisiibule'

Added 15th February 2013

Ensiike ya Express ne Vipers sizoni ewedde e Wankulukuku we yatuukira, nga ttiimu zombi zirwanira kikopo kya liigi kyokka bagenze okusisinkana sizoni eno, nga Express evuyiza mu kyamwenda ate nga Vipers erwana kuwangula liigi.

Bya BASASI BA BUKEDDE

Lwakutaano (mu) liigi ya FSL:

SC Villa – Police, Nakivubo

Express – Vipers, Wankulukuku 

Masaka - KCC, Masaka

Victoria – Entebbe, Namboole

Ensiike ya Express ne Vipers sizoni ewedde e Wankulukuku we yatuukira, nga ttiimu zombi zirwanira kikopo kya liigi kyokka bagenze okusisinkana sizoni eno, nga Express evuyiza mu kyamwenda ate nga Vipers erwana kuwangula liigi.

Kino kivudde ku mutindo ogw’ekibogwe Express gw’eyolesezza sizoni eno sso nga Vipers nnywevu mu bitongole kumpi byonna. 

Ttiimu zombi zisisinkana nga Express nga ku mipiira 15 gye yaakazannya, yaakagoba ebiri egy’omuddiring’anwa omulundi gumu wadde ng’eteebyeyo waakiri mu mipiira gyayo 6 egisembye. 

Yakuba Kira Young (2-0) ne Water (3-1) era okuva olwo teddangamu kuwangula mipiira gya muddiring’anwa sizoni eno. Wasswa Bbosa, omutendesi wa Express, agamba nti Vipers ejje ng’enywedde kuba bagenda kugikaabya aga jjulujjulu.

 Mu gwasooka, Express yakubwa (2-0) e Buikwe kyokka Bbosa agamba nti omutindo ttiimu ye gwe yalaze ng’eremagana ne BIDCO (1-1) e Kakindu ku Lwokubiri, kw’egenda okwongereza bafune obuwanguzi baggye Vipers ku kikopo. KCC ekulembedde yenkanya ne Vipers obubonero (36).

E Nakivubo,  SC Villa yaakwesigama ku ggoolo 16 z’ekubye mu mipiira 8 egisembyeyo okulaba ng’efuna obuwanguzi ku Police. Yakoma obutateebayo ggoolo emyezi esatu egiyise.

E Masaka, KCC ekulembedde liigi, eri ku kigezo okukuba bannyinimu, yeenywereze ku ntikko ya liigi.

Express ewera: ‘Vipers ekikopo ekisiibule’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Muwanga Kakooza

Bakungubagidde Kakooza owa ...

MUNNAMAWULIRE wa Bukedde, Daniel Muwanga Kakooza, aziikiddwa e Ssanga mu ggombolola y'e Gombe ku lw'e Semuto. ...

Biden ne Trump

Trump apondoose; amagye gat...

AMAGYE ga Amerika n'ebitongole ebikessi bitandise okuwa Joe Biden ebyama oluvannyuma lwa Pulezidenti Donald Trump...

Sheikh Muzaata

Embeera ya Muzaata mu ddwaa...

OBULWADDE obuluma Sheikh Nuhu Muzaata Batte bwazze nga musujja okukkakkana ng'ali ku kitanda mu IHK Kampala. Assiddwa...

Minisita Kamuntu (wakati) n'abamu ku bammemba ba UPRS.

Minisita atongozza olukiiko...

Minisita w'ebyamateeka , Polof. Ephraim Kamuntu atongozza olukiiko olufuzi olw’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abayiiya...

Abataka nga bakwasa Museveni effumu n'omuggo.

Museveni alaze by'agenda ok...

PULEZIDENTI Museveni akkirizza okuwaayo ettaka okuli ekibira kya Nauyo- Bugema ekisangibwa mu kibuga kye Mbale...