TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • URA eri ku kigezo; Emalawo ejjoogo ly'Abacameroon mu za Afrika?

URA eri ku kigezo; Emalawo ejjoogo ly'Abacameroon mu za Afrika?

Added 17th February 2013

OMULUNDI URA FC gwe yasemba okulabikako mu kisaawe kya Omnisport ekya Coton Sport eya Cameroon, yakifuluma efeesa bannyinimu bwe baagiwuttiramu (3-0) wansi w’omutendesi Frank Anyau mu 2007.

Bya HASFAH SSONKO
Leero (Ssande) mu za CAF:
Coton Sport – URA FC (11:00)

OMULUNDI URA FC gwe yasemba okulabikako mu kisaawe kya Omnisport ekya Coton Sport eya Cameroon, yakifuluma efeesa bannyinimu bwe baagiwuttiramu (3-0) wansi w’omutendesi Frank Anyau mu 2007.

Paul Nkata, atendeka URA kati, alina ebigezo bibiri by’alina okuyita abalibwe mu bazira ba URA.

Ekisooka alina okuggya obuwanguzi ku bugenyi, URA bw’etafunangako mu mpaka za CAF ng’ate bw’afuba n’okulaba nti ayamba ttiimu eno okwesogga ez’ebibinja z’ekonga olusu kuva mu 2006 lwe yatandika okukiikirira Uganda.

Nga tebannayingira nsiike ya leero, Nkata yategeezezza nti bannyinimu basuubire ttiimu ey’enjawulo ku eyo gye baajooga mu 2007 era tebalowooza nti bagenda kuyisa mukka mu kisero.

URA erwana kweggyako kikwa kya butasukka luzannya lusooka mu mpaka za Afrika emyaka ena (4) gye beetabye mu mpaka zino.

Mu mipiira mwenda gye baakazanya, bawanguddeko ebiri, ne bagwa maliri esatu ate ne bakubwa ena.

Omwaka oguwedde, URA eyalina essuubi ly’okwesogga ez’ebibinja, yakubwa Djoliba eya Mali (2-0) e Namboole ne balemwa okugenda okudding’ana nayo olw’obutabanguko obwali e Mali mu biseera ebyo.

Nkata agamba nti bagenze kunona ggoolo ya ku bugenyi era yeesigulidde ku bumanyirivu bw’abazannyi okuli; Sam Mubiru ne Simeon Masaba okumutaasa.

Abatandika;
Y. Mugabi, S. Masaba, S. Mubiru, S. Ssenkoomi, D. Walulya, F. Usama, O. Kasule, A. Nsumba, S. Kyeyune, Y. Lutimba ne B. Ociti.

URA eri ku kigezo; Emalawo ejjoogo ly’Abacameroon mu za Afrika?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...