TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • URA GAGYESIBYE: Abazannyi bakonkomalidde e Cameroon balinda nnyonyi

URA GAGYESIBYE: Abazannyi bakonkomalidde e Cameroon balinda nnyonyi

Added 19th February 2013

ABAZANNYI n’abatendesi ba URA FC gabeesibidde e Cameroon, bwe babuliddwa ennyonyi ebaggya e Garoua gye baazannyidde omupiira okubatuusa e Douala we balina okufunira endala (ennyonyi) ebakomyawo mu Uganda.

Bya Hasfah Ssonko

Coton Sport 0-0 URA

March 2 e Namboole:

URA - Coton Sport

ABAZANNYI n’abatendesi ba URA FC gabeesibidde e Cameroon, bwe babuliddwa ennyonyi ebaggya e Garoua gye baazannyidde omupiira okubatuusa e Douala we balina okufunira endala (ennyonyi) ebakomyawo mu Uganda.

Ku Ssande, URA yalemaganye 0-0 ne Coton Sport eya Cameroon mu mupiira gw’olusamba olusooka olw’okusunsulamu ttiimu za ‘Orange CAF Champions League’

Maneja wa URA FC, Sam Okabo yategeezezza Bukedde eggulo ku ssimu nti, “Tuli wano e Garoua tukonkomadde. Ennyonyi ebadde erina okututwala e Douala tufune endala etuleeta e Kampala, ezzeeyo etisse bakungu ba gavumenti ya Cameroon ababadde n’olusirika mu kitundu kino.”

Yagasseeko nti, “Emikisa gy’okuva eno leero (eggulo) mitono ddala nga kati tuli mu wooteeri tetumanyi kiddirira.” Garoua kyesudde mayiro 633 okuva e Douala.

Nkata musanyufu

Ye omutendesi wa URA, Paul Nkata agumizza Bannayuganda nti bajja kuggyamu Coton Sport.

“Amangu ddala nga tukomyewo, nja kubaga entegeka z’okuggyamu Coton Sport. Twazannye bulungi era nkakasa tujja kuwangulira e Namboole. Badding’ana March 2.


URA GAGYESIBYE: Abazannyi bakonkomalidde e Cameroon balinda nnyonyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...