OMUTIMA gwange gwateredde ensonga za FUFA ne USL bwe zaakomyewo ewa Minisita Charles Bakkabulindi kubanga y’asinga banne bonna okuzimanya.
Nnali nsazeewo obutaddamu kwogera ku nsonga zino okutuusa nga minisita Jesca Alupo alangiridde ekisembayo, kyokka Alupo yakizudde nti Bakkabulindi y'azisobola.
Nnawakanyaamu minisita bwe yakwata ensonga zino n'aziwa mukama waffe Alupo abadde tazigoberera, era ne nfunamu okutya kyokka kati omutima gwanteredde.
Ku Ssande, abakungu ba Minisitule baasisinkanye aba FIFA ne bayita ne FUFA, eyakiikiriddwa Lawrence Mulindwa, Edgar Watson ne Moses Magogo.
Ku Mmande abakungu ba Minisitule baasisinkanye abateeka ensimbi mu mupiiira, olukiiko ne lugenda bulungi era nnina essuubi nti Minisitule ejja kuvaayo n'ebirowoozo ebirungi.
Aba FIFA baayitibwa gavumenti era tebaaginyooma kubanga bakimanyi nti gavumenti esobola okutaataganya omupiira era beebazibwa. Kano kabonero aka¬laga nti gavumenti bagissaamu ekitiibwa.
Mu nzirukanya y'emirimu, oba osaanye okumanya ani asinga ku munne obuyinza nga kino kiyamba emirimu okutambula obulungi.
Ssaabawandiisi wa Minisitule ow'enkalakkalira, Francis Lubanga, naye ensonga azikutte bulungi kubanga buli ludda aluwadde obudde era enjuyi zonna azze azisisinkana n’akakiiko ke.
Nga bwe tulinda Minisitule okusalawo eggoye, abakungu ba FUFA n'aba USL basaanye beeyise bulungi era bawang'ane ekitiibwa kubanga bonna ba mugaso.
Bannamawulire nabo basaanye okubeera wakati w'abakungu bonna basobole okuwabula obulungi, olwo emizannyo gisobole okukulaakulana.
kateregaya@yahoo.com 0782077016
Bakkabulindi y’asobola ensonga za FUFA ne USL