TOP

Villa ewera: Twagala kikopo

Added 24th February 2013

OBUBONERO buna KCC ekulembedde bw’esinga SC Villa buwaze omutendesi wa Villa, Hamza Kalanzi n’agamba nti kati atunuulidde kuwangula kikopo akakase abamugaya.

Bya BASASI BA BUKEDDE

Mu liigi ya FSL:

KCC                BIDCO

Kira Young    SC Villa

Vipers             Victoria Uni.

Victors            Simba

Water             Express

Mu liigi ya USL:

Victors                Simba

Bunnamwaya   Masaka

Kira Young        Express

OBUBONERO buna KCC ekulembedde bw’esinga SC Villa buwaze omutendesi wa Villa, Hamza Kalanzi n’agamba nti kati atunuulidde kuwangula kikopo akakase abamugaya.

Emipiira etaano Kalanzi gye yaakamala ng’omutendesi omujjuvu awanguddeko ena (Police 3-1, BIDCO 2-0, Kira Young 2-1 n’ogwa URA (3-2) mu luzannya olwasooka.

Aurum Roses yokka ye yaakalemesa Villa ya Kalanzi obuwanguzi bwe baagudde amaliri (1-1).

Mu mipiira egyo, Villa eteebeddemu ggoolo 11 n’eteebwa 5 zokka nga ku zino Ronald Muganga alinako mukaaga.

Kalanzi agamba nti wadde tatendekangako ttiimu ya Super yonna naye obutendesi abusobola nga kati ayagala kukikakasa ng’awangulira Villa ekikopo kya liigi sizoni eno.

Kalanzi ataazannyirako Villa, yali mumyuka wa Paul Nkata eyeegatta ku URA gye URA gye buvuddeko.

BIDCO EGENZE NNYIIVU:

E Lugogo, omutendesi wa KCC, George Nsimbe yatunudde ebikalu nga BIDCO emusuuuza obubonero bubiri.

Baalemaganye (2-2). KCC ekulembedde n’obubonero 40, BIDCO yagivudde mabega okugiteeba ggoolo bbiri oluvannyuma lwa Herman Wasswa okuteebera KCC eyasoose.

Azizi Kemba ne Asiku Crespo baateebedde BIDCO kyokka peneti ddiifi ri David Aula gye yawadde KCC kata erwanye aba BIDCO nga bagamba nti teyabaddeyo.

KAJOBA AVUMYE DDIIFIRI:

Omutendesi wa Simba, Fred Kajoba yavudde mu mbeera n’awaanyisiganya ebigambo ne ddiifi ri Aisha Ssemmambo olwa kye yayise omusaliriza. Victors yawangudde (1-0) mu kisaawe e Kakindu mu Jinja.

Villa ewera: Twagala kikopo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...