TOP

URA etuuyana: 4 bandisubwa ogwa Coton Sport

Added 27th February 2013

NG’OMUTENDESI wa URA, Paul Nkata akasala entotto ku ngeri gy’anaafunamu obuwanguzi obumuyisaawo ku Coton Sport eya Cameroon nga badding’anye mu gwa Orange CAF Champions League ku Lwomukaaga, enkambi ye eguddemu nnabe abazannyi abalala basatu nabo bwe bafunye obuvune.

Bya H. Ssonko ne H. Bukenya

Lwamukaaga, mu za Afrika:

URA FC - Coton Sport (10:00)

NG’OMUTENDESI wa URA, Paul Nkata akasala entotto ku ngeri gy’anaafunamu obuwanguzi obumuyisaawo ku Coton Sport eya Cameroon nga badding’anye mu gwa Orange CAF Champions League ku Lwomukaaga, enkambi ye eguddemu nnabe abazannyi abalala basatu nabo bwe  bafunye obuvune.

Mu gwasooka e Cameroon, baalemagana (0-0) ekitegeeza nti URA okuyitawo yeetaaga kuwangula buwanguzi nsiike eno eneebeera mu kisaawe e Namboole.

Kapiteeni Simeon Masaba abadde n’obuvune yeegattiddwaako Farouk Osama (naye kakongovvule) sso nga Derrick Walulya, Oscar Agaba (musujja).

“Tukola ekisoboka okulaba nga bassuuka mu budde kuba tubeetaaga mu ttiimu. Ebula ennaku bbiri kyokka tebanandamu kutendekebwa,”  Nkata bwe yagambye.

Masaba teyazanya gwasooka bwe yalwalira mu kutendekebwa okwasembayo e Cameroon sso nga Agaba, Walulya ne Osama bonna baatandika.

Coton Sport etuuka leero:

Abacameroon balindirirwa leero mu nnyonyi ya Kenya Airways ku ssaawa musanvu nga baakusuzibwa mu wooteeri ya Sky e Ntinda, sso nga ne baddiifiri okuva e Tanzania nabo basuubirwa leero okusinziira ku nsonda mu URA.

URA etuuyana: 4 bandisubwa ogwa Coton Sport

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...