TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • 'Liigi zombi zibeewo': Minisita Alupo ensonga za FUFA ne USL zimuzitooweredde

'Liigi zombi zibeewo': Minisita Alupo ensonga za FUFA ne USL zimuzitooweredde

Added 6th March 2013

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Emizannyo, Jessica Alupo alemeddwa okusalawo ku liigi entuufu wakati w’eya FUFA Super League (FSL) eddukanyizibwa FUFA ne Uganda Super League (USL) eya Kavuma Kabenge.

Bya Basasi ba Bukedde

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Emizannyo, Jessica Alupo alemeddwa okusalawo ku liigi entuufu wakati w’eya FUFA Super League (FSL) eddukanyizibwa FUFA ne Uganda Super League (USL) eya Kavuma Kabenge.

Mu lukiiko minisita mwe yasisinkanidde bammemba ba ttiimu ezaatandikibwawo USL, yagambye nti liigi zombi zigende mu maaso wabula sizoni ejja zirina okwegatta zikole ekibiina ekinaddukanya liigi ku lwa FUFA nga badayirekita bonna bakiikiriddwa kyenkanyi.

Minisita agamba nti kino bwe kinaalema, Gavumenti yaakweddiza okuddukanya liigi. 

“Mu kaseera kano tosobola kuyimiriza liigi ya USL kuba kiraabu ezizannyirayo zirina endagaano ne USL nga bwe zitazannya ziba zimenye mateeka,” Alupo bwe yategeezezza eggulo ku kitebe kya minisitule y’Ebyenjigiriza n’Emizannyo mu Kampala.

Ebiteeso omukaaga bye byatuukiddwaako mu nsisinkano eno nga mulimu; 

1 Liigi zombi (eya FSL ne USL) zaakugenda mu maaso okutuusa sizoni lw’eneekomek-kerezebwa.

2 Sizoni ejja erina kutandika ne liigi emu.

3 Buli kiraabu ya Super ku ezo 16, ezikkirizibwa okuzannya, erina okukiikirirwa waakiri ne dayirekita ku kakiiko ka liigi sizoni ejja.

4 Ku nkomerero ya sizoni eno FSL ne USL zaakwegatta zikole kkampuni emu eneddukanya liigi ku lwa FUFA. Wabula minisitule yaakuteekawo akakiiko ak’ekiseera akanaakwanaganya enjuyi zombi. 

5 Abanaddukanya liigi sizoni ejja, balina okukwatagana ne kkampuni eteekamu ssente. Supersport yakkiriza okukolagana ne kkampuni eneeteekebwawo.

6 Gavumenti y’erina obuyinza obw’enkomeredde okusalawo ku nsonga yonna mu mupiira singa wabeerawo ekitagenda bulungi.

Yawunzise agamba nti ebiteeso byonna byakugabanyizibwako bonna abakwatibwako omupiira okuli; FUFA, FIFA, abateeka ssente mu liigi ne USL.

 

‘Liigi zombi zibeewo’: Minisita Alupo ensonga za FUFA ne USL zimuzitooweredde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutesi (ku kkono) n’abaana be nga basobeddwa.

Ow'abaana 5 bamutundidde mu...

Maama ow'abaana abataano e Katwe okumpi ne Kampala asattira olwa bba eyamutundidde mu nju. Sumayiya Mutesi 38,...

Nampanga eyattiddwa.

Bawambye omuwala w'essomero...

Entiisa ebuutikidde abatuuze b'oku kyalo Kirulumba mu muluka gwe Kirulumba mu Kiboga Town Council bwe basanze omuwala...

Abaabadde batwala omulambo okuziikibwa.

Amagye gasiimye ebyakolebwa...

AMAGYE ga UPDF gasiimye emirimu egyakolebwa Major Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga eyafiiridde ku myaka 85 bwe...

Muzamir Mutyaba yeegasse ku...

MUZAMIR Mutyaba oluvannyuma lw’okusalwako KCCA FC omwaka oguwedde, yeegasse ku Express FC mu liigi ya babinywera...

atambulira ku muggo. Mu ssaako ku kugulu we baamukubye essasi.

Eyakubiddwa essasi mu by'ok...

OMUKUNZI w’abavubuka mu NRM, Charles Kabagambe akukkulumidde amagye okumukuba amasasi mu kugulu kyokka ne batafaayo...