TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omukazi awagira omupiira n'owemmotoka z'empaka owasaako ani? Giigino emize gyabwe

Omukazi awagira omupiira n'owemmotoka z'empaka owasaako ani? Giigino emize gyabwe

Added 11th March 2013

OMUZANNYO gwa mmotoka z’empaka n’omupiira gikutte nnyo abawagizi nga n’abakyala obatwaliddemu omubabiro. Bwe gutuuka wano mu Uganda, gujabagira anti abakazi bangi abawagizi ba mmotoka z’empaka n’omupiira, basiyagguka eng’endo bagende bawagire ttiimu zaabwe oba abavuzi be bafiirako. Bukedde ekoze ok

OMUZANNYO gwa mmotoka z’empaka n’omupiira gikutte nnyo abawagizi nga n’abakyala obatwaliddemu omubabiro. Bwe gutuuka wano mu Uganda, gujabagira anti abakazi bangi abawagizi ba mmotoka z’empaka n’omupiira, basiyagguka eng’endo bagende bawagire ttiimu zaabwe oba abavuzi be bafiirako. Bukedde ekoze okunoonyereza n’ekuleetera emize egiwanuuzibwa ku bakazi abawagizi b’omupiira n’abo abatamiira ku mmotoka z’empaka.

1 Ono tatuula waka nga mmotoka gyeziri. Mmotoka z’empaka kimanyiddwa, nti zivugibwa mu bitundu bya njawulo ebizingiramu okutambula eng’endo empanvu. Omukazi aziwagira, tosobola kumugaana kuva waka bw’agamba nti agenda kuziraba. Ekibi, gy’alaga tamalaayo lunaku lumu, wabula akulungulirayo ddala kumpi ennaku ssatu anti zitandika Lwakutaano ne ziggwa ku Ssande. Kati ggwe musajjawattu eyawasa omuwagizi oba omuvuzi wa mmotoka, ennaku z’amalayo amaka go gabeera ku ki? Tegafuuka ekisekererwa!! Ofunda n’ow’omupiira agenda akawungeezi ate n’akomawo. 

2 Badiibuuda ssente:

Emmotoka zeetaaga ssente nnyingi. Singa empaka zibeera Masaka, oba Mbarara, bw’oba musajja naawe weebaleemu ku musimbi gw’onoowa mukyalawo agenda okumalayo ennaku essatu. Olina okumusasulira loogi, okumugulira ekyemisana n’ekyeggulo kuno ssaako ez’entambula. Bw’obeera n’ensawo enjabayaba, nga mu myezi ebiri mulimu empaka za mirundi esatu, oba osaasaanyizza ssente mmeka? Ng’oggyeeko ebyo, omukazi ono alina okubeera ne ssente z’okumucakaza nga buzibye okugeza okugendako mu kiraabu oba okunywamu ne banne. Ayinza okukozesa emitwalo egitakka wansi wa 40 buli mpaka lwe zibeerayo. Muba temutuuse kukolerera mmotoka za mpaka zokka! Ye awagira omupiira, olina kumuwa za ntambula na za kuyingira sso si butitimbe bwa okuli ne loogi!

3 Olw’okuba nti abavuzi baba n’enzirusi zaabwe, nnakyala naye awagira mmotoka ayagala yesse mu butaala mbu naye avuge. Kati bw’omu-wasa nga towera mu nsawo, totuuse kubba omugulire mmotoka! Bw’ata-kola ekyo, ayinza okukulekawo n’afuna abamugyamu abasobola okumugulira mmotoka emutambuza oba ebyo ebimugyisa mu banne. Ow’omupiira yamanyiira takisi kuba muba era tasobola kukusaba mmotoka nti agende alabe omupiira. 

4 Banywa nnyo; Abakazi abawagizi ba mmotoka z’empaka bawuuta ebbidde! Omwenge baaguufula mazzi. Batandika okunywa nga basimbula okutuusa lwe bakomekkereza empaka anti mbu omwenge gubawa amaanyi. Teebereza nga mukyalawo Musiraamu oba eddiini endala etakkiriza mwenge, tayinza kuguyigira eyo n’agunywa n’afuuka ekitagasa? Atutte omuwagizi w’omupiira asinga anti ne mu bisaawe tebakkirizaayo macupa ate aba mu kuwagira ttiimu ye tafuna budde bunywa.

5 Bamatira nnyo abavuzi ba mmotoka era  bw’oba musajja ow’ebbuba, akuleka omutima teguliimu. Tekigaana mukazi ono kubuukira muvuzi musajja n’amugwa mu kifuba ng’amu-yozaayoza okuwangula. Olowooza kiki ekivaamu? Oluusi bw’aba amumatidde nnyo, erinnya lye liba terikyamuva ku mimwa. Teebereza nga mu nsonga za kikulu, munno mu kifo ky’okukuwaana ogenda okuwulira ng’akubyewo linnya lya muvuzi wa mmotoka gw’awagira! Awagira omupiira kizibu okulaba ne ku muzannyi anti omupiira oluggwa, ng’abazannyi beesogga akasenge nga bagenda. 

6 Mu loogi n’ebifo ebirala abakazi abawagizi ba mmotoka z’empaka gye basula nga bagenze mu mpaka. Teebereza mukyalawo gwe wakeera n’okuba embaga bw’asula mu bbaala oba mu kidongo! Ye biki bye bakolerayo? Ow’omupiira ye tewali kimusuza mu biduula anti alina okukomawo awaka ng’omupiira guwedde.

7 Ennyambala yaabwe: Tekoma kuba ya kookoonyo, wabula yeesittaza n’abantu abalala. Basinga kwambala bugoye bumpi era bw’asanga maama wo oba abamu ku b’enganda zo, oyinza okuswala n’okomayo anti nga bakugamba nga bwe wawasa omusege. Ye omukazi Omusiraamu, obwo obugoye abusaaliramu atya ng’omugongo, ebisambi n’ebitundu by’omubiri ebirala biri wabweru? Ow’omupiira olw’okuba ava awaka nga wendi, nnyinza okumukomako. Bwe mba simulabye ng’agenda, akomawo nga wendi ne ndaba bwe yayambadde.

8 Tebatambula na baana: Tewali musajja ayinza kukkiriza mukazi kutwala mwana we mu mmotoka z’empaka awali obubenje. Kati omukazi bw’agenda mu mmotoka, eddimu ly’okulabirira abaana omuli okubanaaza, okubawa ekyeggulo ssaako okubatwala ku ssomero, biba bisigalidde musajja.  Ow’omupiira, agenda okuva awaka nga byonna yabitereezezza dda era omusajja tabonaabona.

Omukazi awagira omupiira:

1 Omukazi awagira omupiira alumya! Okumanya alumya, okimanyi nti ku lunaku omupiira lwe guliyo awaka wayinza n’okukutama! Omukazi aba mu kukaayana ne banne ku ttiimu ye, mbu nga bawakana ku ani anaawangula oba omuzannyi anaazannya. Ate bwe guggwa nga ttiimu ye bagikubye, kisukka. Ayinza okukomawo nga yenna omumwa gumuli mu nnyindo era n’omala obaako ky’omugamba, bwe lutaba luyi kukwanukula, obeera owonye. Ekiro ekyo, n’eby’okukuba emmese tobinyegako. Eby’okunyiiga mu mmotoka z’empaka tebibaayo era kizibu okusanga omuwagizi akomyewo ng’omumwa gumuli mu nnyindo.

2 Taggweebwako ng’endo: Buli wiikendi, abeera mu kkubo ng’agenda kulaba mipiira oba kutendekebwa kwa ttiimu ye. Bw’aba muwagizi wa Villa, alina okugiwerekera ng’egenda okukyala e Masaka. Bw’avaayo, wiikendi eddako abeera Jjinja, Villa gy’egenda okukyalira Victors kati ggwe musajjawattu n’obeera nga wiikendi ogimala wekka. Emmotoka z’empaka zo teziba za buli wiikendi era omuntu wo obeera naye awaka.

3 Ayingira matumbibudde: Ng’egimu ku mipiira bwe gizannyibwa akawungeezi oba ekiro, mukazi wo bw’aba muwagizi waagwo, olina okukimanya nti ojja kugumiranga okukuzuukukanga omuggulire ayingire. Teebereza ng’ava Masaka, adda Kampala ziba ssaawa mmeka? Oba singa Express ye eva Gulu kuzannya n’emu ku ttiimu yaayo, atuuka ssaawa mmeka? Emmotoka z’empaka engeri gye ziggwa emisana, omukyala asobola okutuuka awaka nga bukyalaba.

4 Omukazi akola eby’ekiralu ng’ali ku kisaawe awagirira, tomwewuunya! Alalukira ddala nga ttiimu ye eteebye, eddalu, effujjo, olube n’embuukabuuka y’abakazi abawagira omupiira ekwewuunyisa. Bw’oba nga gwe wamuwasa, oba towemuse. Mu mmotoka z’empaka, tebibaayo kuba abavuzi babeera mu bitundu ebyenjawulo.

5 Obuyombi n’okuwemula: Owasibuka olutalo kwe kumwogerera ttiimu ye amafuukuule oba okumujerega ng’ekubiddwa. Tebaawukana na kumokkola gagambo ssaako okuboggoka. Omukazi omuwagizi w’omupiira nga yayasamizza akamwa, olina okugobawo abaana abato bonna kuba ebigambo ebimufubutukamu, biba bizito ddala. Bino babiggya ku bisaawe gye balabira emipiira. Emmotoka zirabibwa bantu abatawemula era abeetwala ng’abagunjufu.

6 Bw’oba onoonya mukyala wa kitiibwa, totawaana kuwasa muwagizi wa mupiira. Bambala bubi, era bettanira nnyo emijoozi ka kube kuziika, okukyalira bannaabwe era bw’oba tomukomyeko, omuwagizi w’omupiira ayinza ogujjira mu mujoozi ku mbaga yo. Awasizza ow’emmotoka oba olidde anti engeri gy’aba ne ssente, yeeyiwamu obwambalo obw’ebbeeyi.

7 Bamatira nnyo abazannyi b’omupiira oluusi ekivaamu obwenzi. Osanga omukazi ng’afiira ku Ronaldo, Beckham oba Rooney naawe ne weewuunya. Ne kakutanda n’omwogerako ekibi, omuwulira akamufaamu. Bw’aba ng’amatidde muzannyi wa wano, olowooza kiki ekibaawo naddala ng’omuzannyi oyo ateeba ggoolo. 

Omukazi awagira omupiira n’owemmotoka z’empaka owasaako ani? Giigino emize gyabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...