Ku wiikendi, abavuzi ba mmotoka baabadde basindana mu mpaka za SMC Challenge Rally e Garuga. Hamid Kalanzi akuleetedde abavuzi ab’enjawulo n’emize gyabwe.
Ponsiano Lwakataka ‘mafu mafu’: Ono ayogera nnyo. Ne bw’oba tonnamulaba mu kifo, owulira buwulizi ddoboozi n’omanya nti waali. Musajja mwewaanyi nga bwe wataliiwo amusinga kubonga mmotoka, era talina kkubo ly’atya kuyisaamu mmotoka.
Ronald Sebuguzi: Wadde obusirise bulungi naye obwa Sebuguzi buyitirira ne butama. Musajja muwagguufu gwe wandisuubidde okuvaamu eddoboozi ery’omwanguka oba okwogera ku nsonga n’agisimbako amannyo wabula si bwe kiri. Ne bw’oba olina amagezi g’omuwa, obulwa bw’omutandika okuggyako ng’omumanyi nnyo oba ng’alina ky’akwagalako. Bw’oba owaamawulire, oba oluguddemu anti kizibu okumuggyamu ky’oyagala.
Duncan Mubiru ‘Kikankane’: Ono teyeeguya era enjogera ye n’ebikolwa biggyayo bulungi omuze guno. Kikankane bw’oba tomumanyi era ng’omuwagira ayinza okukulumya omutwe, anti kyangu nnyo okwenyiiza ne kimukozesa ensobi n’awanduka mu mpaka.
Wycliff Bukenya ‘Roll Master’: Musajja amanyiddwa ng’omuntu atava w’asibidde waakiri obutavuga mpaka n’addayo ewuwe. Mu 2011 e Mukono, Bukenya yavaamu ng’agamba nti akooye. Bwe baagezaako okumwegayirira yasimbula busimbuzi mmotoka ye n’adda e Kampala.
Christakis Fitdis: Omwami ono awaabawaaba nnyo. Wadde nga yatandika mwaka guwedde okuvugira wano, kizibu nnyo okumalako empaka nga tawaabye oba okwekwasa ekintu kyonna. Abategesi baamuyiga era buli ssaawa baba balinda gw’agenda okuwawaabira.
Leila Mayanja: Nnakyala ono yeepikira ku buli omu. Buli muvuzi mulungi amwepikira ng’agamba nti amusobola. Yasooka Susan Muwonge eyawangula engule ya 2011, bwe yamusinga, n’addako ku basajja nabo abaamulema ne yeekwasa mmotoka ye Mitsubishi Evo2 okumutimawa.
Nasser Mutebi: Mu bavuzi abeesoma, Nasser yasoba! Buli ssaawa Nasser aba ayogera ku bya kugula mmotoka ya bbeeyi oba sipeeya omupya. Omwaka oguwedde yavugako empaka za mirundi ebiri n’abula, bwe yakomawo n’agamba nti aguze mmotoka empya (Subaru N11) gy’avuga kati kyokka nayo ne kizuuka nti yali nkadde.
Jas Mangat; Oluyonjoyonjo oluli ku musajja ono terugambika. Mangat ayagala akuume mmotoka ye nga tekuli wadde akataka, era bw’aba yaakava mu luguudo, tatereera nga mmotoka ye tennanaaba waakiri okuleka ekirabo ky’awangudde.
Susan Muwonge: Ono mutiitiizi ekisusse. Bw’oba oyagala akubagane, wabeewo omuvuzi amwepikidde ng’amanyi nti abategesi basobola okubasimbula bombi.
Mbuulira omuvuzi wa mmotoka kw’ofiira nkubuulire omuze gwe