TOP

Ali Kitonsa eyaliko emmunyeenye ya Cranes afudde

Added 23rd March 2013

EYALIKO emunyenye ya Express ne Cranes mu gy'e 60 ne 70, Ali Kitonsa afudde.



 

Bya ESTER NALUSWATA

 

EYALIKO emmunyeenye ya Express ne Cranes mu gy'e 60 ne 70, Ali Kitonsa afudde.

Kitonsa, 74 , afiiridde mu ddwaaliro e Mulago gy'amaze omwezi mulamba ng'atawaanyizibwa ekimbe.

 

Kitonsa abadde asizza ku byuma oluvannyuma lw'abasawo okukizuula nti obulamu bwe tebukyasobola kwetengerera.

 

Kitonsa abadde akyogera lunye nti y'alina likodi ya ggoolo ennyingi mu liigi, obulwadde bwamutandika emyezi munaana (8) egiyise bwe yagwa ekigwo mu maka ge nga 'sukaali' attuse ekimuviiriddeko omusujja n'omutwe ogw'amaanyi.

Ntege Nyindo (amuyita kkojja) y'abadde amujjanjaba.

Ebitonotono ku Ali Kitonsa

1. Yamenya likodi y’okuteeba ggoolo mu liigi bwe yateeba ggoolo 45 mu sizoni ya 1964.

2. Yazannyira Cranes ng’omupiira gwe ogwasooka ku ttiimu eno yaguzannya nga December, 1961 nga Uganda ettunka ne Tanzania.

3. Mu 1963, yateeba ggoolo 6 Uganda bwe yali ewuttula Zanzibar ggoolo 8-0 mu Gossage nga kati eyitibwa CECAFA.

4. Mu 1963, yateeba ‘hatrick’ (ggoolo satu) mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu All Africans Games. Uganda yali ezannya Misiri e Nakivubo. Omupiira guno gwaggwa 4-1.

5. Omugenzi era yazannyirako Zamalek GC eya Misiri emyezi musanvu mu 1963.

6. Ng’awummude omupiira, yatendekako Wandegya FC era n’asitula omutindo gwayo mu 1981.

7. Alese abaana 12.

8. Abadde ssentebe wa Kironde zooni (Ndeeba).

9. Bulijjo abaddenga akidding'ana nti y'akyasinze okuteeba ggoolo mu liigi ya Uganda (54) sso si Andrew Mukasa (45).

Kitalo! Omukama amuwe ekiwummulo eky’emirembe.

 

Ali Kitonsa eyaliko emunyenye ya Cranes afudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...