TOP

Villa esumagidde

Added 3rd April 2013

EMIKISA gya SC Villa okuwangula ekikopo kya liigi sizoni eno gyazzeemu omukoosi, Express bwe yagikubye ggoolo 2-0 eggulo mu kisaawe e Namboole.

Bya Basasi ba Bukedde

Mu liigi ya FUFA:

Villa         0-2  Express

Entebbe 2-1 Simba

Proline   1-0  Victoria

Vipers     0-0  Kira Young

Police      0-1  KCC

EMIKISA gya SC Villa okuwangula ekikopo kya liigi sizoni eno gyazzeemu omukoosi, Express bwe yagikubye ggoolo 2-0 eggulo mu kisaawe e Namboole.

Villa, eyazze mu nsiike eno nga yeetaaga buwanguzi buginywereza mu lwokaano lwa kikopo, ekisenge kyayo kyasumagidde mu ddakiika ya 24, Frank Kalanda bwe yazzizzaako omupiira ogwamusaziddwa Rogers Lukwiya ne guyingira akatimba. 

Mu ddakiika ezazzeeko, Villa yagezezzaako okulumba kyokka ng’ennumba zaayo zikoma ku kisenge kya Express ekyabadde ekigumu.

Mu ddakiika ya 55, Willy Kavuma yazzeemu okukwata ekisenge kya Villa obujega bwe yasaze abazibizi Mike Kabanda ne Ayub Kisaliita n’akuba ennyanda eyalemye omukwasi wa ggoolo, Martin Erungat, okukwata.

Obuwanguzi buno bwanywerezza Express, eri mu lwokaano lw’okusalwako mu ky’e 10 ate nga ne Villa yasigaddewo mu kyokusatu ku bubonero 42 mu mipiira 24. 

Puleesa yeeyongedde ku mutendesi wa Villa, Hussein Mbalangu nga kati mu mipiira mukaaga yaakawangulako gumu gwokka.

E Kavumba, KCC yayongedde amaanyi mu kaweefube w’okuwangula ekikopo kya sizoni eno bwe yawangudde Police (1-0). Jimmy Kakooza ‘Kacanga’ yateebedde KCC mu ddakiika y’e 68 okuva mu paasi eyamuweerezeddwa Tom Masiko. KCC yeenywerezza ku ntikko ya liigi ku bubonero 51 okuva mu mipiira 24.

E Buikwe mu Kyaggwe, Kira Young yalemedde ku Vipers mu maka gaayo bwe yagisuuzizza obubonero bubiri n’esannyalaza emikisa gyayo okuwangula ekikopo. 

Bakira bannyinimu bakola ennumba kyokka ng’ekisenge kya Kira kiri gguluggulu. Vipers, yawezezza obubonero 44 mu mipiira 25 ekirese emikisa gyayo ku kikopo mu lusuubo.

Lugogo, Proline yakubye Victoria University (1-0) n’etaangaaza emikisa gy’okusigala mu liigi.
 

Villa esumagidde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...