TOP

'Kikankane' tamatidde

Added 3rd April 2013

OMUVUZI w’emmotoka z’empaka Dancan ‘Kikankane’ Mubiru n’amusomera maapu, Paul Musaazi bawakanyizza ebyasaliddwaawo abateesiteesi b’omuzannyo guno mu mpaka za MOSAC Easter Sprint ezaabadde ku Festino Cite e Mukono ku Easter Monday.



Bya H. NSUBUGA NE S. KIBUUKA

OMUVUZI w’emmotoka z’empaka Dancan ‘Kikankane’ Mubiru n’amusomera maapu, Paul Musaazi bawakanyizza ebyasaliddwaawo abateesiteesi b’omuzannyo guno mu mpaka za MOSAC Easter Sprint ezaabadde ku Festino Cite e Mukono ku Easter Monday.

Kikankane, eyavuze Subaru Impreza N12B, yawakanyizza ekimu ku bibonerezo ebibiri (2) ebyamuweereddwa nga kino kyamuviiriddeko okusalwako obubonero n’asindikibwa mu kifo eky’e 12, sso nga yabadde avuganya ku buwanguzi.

Yasabye abategesi okusazaamu ekibonerezo ne bagaana, era bwe yayitiddwa okuweebwa emidaaali bombi ne Musaazi ne bagaana era Ronald Sebuguzi ayabadde akola omukolo gw’okugigaba n’agitwala.

Teyakomye kuno wabula ne bwe yasabiddwa okugabira abalala emidaali nakyo yakigaanyi.

Kikankane yagambye nti eky’abategesi obutabeera balambulukufu kiyinza okumuviirako okuva mu mmotoka z’empaka mu Uganda.

Empaka zaawanguddwa Jas Mangat n'addirirwa Arthur Blick Junior, Shafic Ssemuju n’abalala. ne Christakis Fitidis.

Abalala nga bwe baddiringanye kwabaddeko; Omar Mayanja, Jonas Kansiime, Fred Wampamba, Abdul Kateete, Abbas Twesigye, n'abalala.

Omuvuzi Susan Mayanja teyasobodde kumalako mpaka zino emmotoka ye bwe yagudde ate nga ye Rogers Kiggundu ne munne Eddie Mukiibi emmotoka baagivugidde ne ku lupanka oluvannyuma lw’omupiira okwabika.

Kigundu yagambye nti omupiira guno gwamukozessa nnyo era asuubira okutereeza embeera eno akole bulungi okusinga bwe yakoze ku mulundi guno.


 

‘Kikankane’ tamatidde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...