
Bya Henry Nsubuga
OMUTENDESI wa Victoria University, Alex Isabirye akunze bannabyamizannyo okwettanira okusoma ennyo basobole okufuna mu bitone byabwe.
Isabirye yagambye nti bangi ku bannabyamizannyo mu Uganda tebafunye mu bitone byabwe olw’endowooza enkyamu nti ne bwe batasoma ebyabwe biba bulungi.
Yakunze n’abo mu kiseera kino abeekolera edda amannya mu mizannyo egy’enjawulo naye nga tebaakaza kkalaamu, baddeyo basome kibayambe okweyongerako.
Bino Isabirye yabyogeredde Mukono ku ssomero lya St. Stephens SSS Ddandira bwe yabadde akwasa abayizi abaasinze okuzannya emizannyo egy’enjawulo, ebikopo byabwe mu mpaka z’amayumba (Inter Houses).
Yeewaddeko ekyokulabirako n’agamba nti yakoma mu S.6, era ng’alina ebirungi by’afunye mu mupiira, kyokka nga ssinga yasoma okusingako awo yandisinzeeko w’ali kati.
Ennyumba ez’enjawulo omwabadde Junju, Mwanga, Muteesa ne Chwa ze zeetabye mu mizannyo.
Ennyumbaya Junju yasitukidd mu kikopo kya volleyball, ate Muteesa n’esinga mu muzannyo gwa scrabble.
Abeemizannyo muddeyo musome - Isabirye