TOP

Mbalangu yeegobye: Abawagizi bamuvumye n'adduka mu Villa

Added 25th April 2013

EBIVUMO n’okutiisibwat-iisibwa okuva mu bawagizi ba Villa, bigobye omutendesi Hussein Mbalangu ku gw’obutendesi bwa ttiimu eyo gw’amazeeko emyezi ebiri gyokka.Bya HUSSEIN BUKENYA

EBIVUMO n’okutiisibwat-iisibwa okuva mu bawagizi  ba Villa, bigobye omutendesi Hussein Mbalangu ku gw’obutendesi bwa ttiimu eyo gw’amazeeko emyezi ebiri gyokka.

Okuva ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, Villa  lwe yalemaganye (0-0) ne Water, Mbalangu taddangambu kulabika ku ttiimu nga kyavudde ku bawagizi kumuvuma ku mupiira ogwo nga bamulanga okukonya ttiimu yaabwe. 
 
Emipiira 6 egiddiring’ana gy’abadde mu mitambo gya Villa, tefunye buwanguzi ekivuddeko abawagizi okwekyawa. 
 
Mbalangu, agamba nti yagenzeeko Kyaggwe gye bamuzaala okujjanjabwa omutwe ogumuluma era waakukomawo ng’assuuse. “Nninamu obuzibu n’omutwe wabula bwe nnaawona, nja kukomawo ku mulimu,” Mbalangu bwe yategeezezza omusasi wa Bukedde ku ssimu eggulo.
 
Abazannyi abalwadde bassuuse:
 
Steven Bengo ne Isaac Muleme ababadde n’obuvune, ssaako Moses Ndaula, Hakim Magumba ne Miisi Katende ababadde bakaaba obulwadde, oluwulidde nti Mbalangu takyajja ku Villa Park, ne ‘bassuuka’ era ne beeyanjula mu kutendekebwa.
 
Villa ezannya ekyalira Proline enkya mu kisaawe e  Lugogo.

 

Mbalangu yeegobye: Abawagizi bamuvumye n’adduka mu Villa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....