TOP

MICHO: 'Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize'

Added 22nd May 2013

NG'ENDA kuyamba Cranes okugituusa ku birungi ebirala,” Micho bwe yategeezezza abaamawuire bwe yabadde ayanjulwa ng’omutendesi wa Cranes omuggya eggulo ku kitebe kya FUFA e Mengo.



Bya DAVID KIBANGA NE HASFAH SSONKO

NG'ENDA kuyamba Cranes okugituusa ku birungi ebirala kuba obusobozi mbulina bwe tunaakwatagana obulungi,” Micho bwe yategeezezza abaamawuire bwe yabadde ayanjulwa ng’omutendesi wa Cranes omuggya eggulo ku kitebe kya FUFA e Mengo.

Micho, enzaalwa y’e Serbia yasikidde Bobby Williamson eyagobwa ku mulimu guno ku ntandikwa y’omwezi oguwedde yakikkaatirizza nti bulijjo omutima bwe gumulumira mu Uganda olw’omukwano abawagizi gwe baamulaga ng’ali mu SC Villa wakati wa 2002-2004.

“Ntambudde amawanga mangi naye Uganda yansigala ku mwoyo. Bannayuganda banjagala nnyo ate nga Villa ye yanzigulirawo ekkubo ly’okutendeka omupiira mu nsi yonna. 

Wabula Micho yeebalamye eky’okukakasa Bannayuganda nga bw’agenda okutwala Cranes mu za Afrika ne World Cup mu ndagaano y’emyaka ebiri gye yataddeko omukono.

Ng’ayanjula Micho, 43, pulezidenti wa FUFA, Lawrence Mulindwa yalaze nga bw’alina obwesige nti ajja kusobola okukyusa omupiira gwa Uganda okuguggya ku ddaala kwe gubadde.

Micho waakumyukibwa Sam Timbe eyasikidde Jackson Mayanja ne Kefa Kisala ate Sam Kajoba yasigaddeko ku butendesi bw’abakwasi ba ggoolo.

 

MICHO: ‘Nzize kutuusa Cranes mu nsi ensuubize’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...

Ssentebe wa LC II e Luwero ...

SSENTEBE wa LC II e Luweero yasoose kulaalika babbi ababbye pikipiki ye n'abawa ennaku 10 bagizze we baabadde bagiggye...