TOP

Sekaggya: Ttiimu y'e Colombia emukansizza

Added 16th June 2013

OLUVANNYUMA lw’endagaano ye okuggwaako mu Red Bull Salzburg eya Austria mw’abadde azannyira, eyali kapiteeni wa Cranes, Ibrahim Sekaggya ttiimu y’e Colombia emuwadde endagaano.

Bya HUSSEIN BUKENYA NE Hasfah SSONKO

OLUVANNYUMA lw’endagaano ye okuggwaako mu Red Bull Salzburg eya Austria mw’abadde azannyira, eyali kapiteeni wa Cranes, Ibrahim Sekaggya ttiimu y’e Colombia emuwadde endagaano.

Expreso Rojo ey’ekibinja ekyokubiri ye yakkaanyizza ne Sekaggya agizannyire ku ndagaano ya myaka ebiri. Kkampuni ya Profi Sports Management ekola nga kitunzi wa Sekaggya, emaze sizoni ewedde ng’enoonyeza Munnayuganda ono ttiimu gy’anaazannyira.

Sekaggya yeegatta ku Red Bull Salzburg mu 2006 ng’ava mu Arsenal de Sarandi eya Argentina ng’agizannyidde emyaka mukaaga mw’awangulidde ebikopo bya liigi bisatu n’ekya Austrian Cup kimu.

Omuzibizi ono, yaggyiddwa ku lukalala lw’abazannyi abagenda okuzannyira Salzburg sizoni ejja. KCC etokota Mpande:

Omutindo gw’omuwuwutanyi wa Cranes ne Vipers, Joseph Mpande gwolekedde okumufunira ennamba mu KCC bakyampiyoni ba liigi.

Ensonda mu KCC ne Vipers zigamba nti baatudde ku mmeeza ne bateesa ku by’okugula omuzannyi ono era agavaayo galaga nti buli kimu kigenda bukwakku. 

KCC, egenda okukiikirira Uganda mu mpaka za Orange CAF Champions League, eri ku muyiggo gw’abazannyi abalungi abasobola okugiggumiza naddala ku lukalu lwa Afrika.

Kigambibwa nti balinze muzannyi ono amalirize omupiira gwa Cranes bamalirize enteeseganya.

Sekaggya: Ttiimu y’e Colombia emukansizza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...