
Bya David Kibanga, Darfur Sudan
Leero mu CEACAFA:
URA- El Hilal, 10:00
OMUTENDESI wa URA, Paul Nkata, ayolekedde okusubwa omupiira ttiimu ye gw’eggulawo nagwo mu mpaka za CECAFA Kagame Cup ezitandika leero mu kibuga Darfur mu Sudan.
Nkata, teyasitudde na ttiimu olw’omuteebi we Frank Kalanda gwe yaakagula mu Express FC, okulemwa okufuna paasipooti mu budde.
URA, eyasikidde Tursker eya Kenya mu mpaka zino, y’eggulawo ne bannyinimu aba El Hilal ng’omutendesi Nkata amagezi gakyamwesibidde Kampala era singa tatuuka mu budde, omumyuka we Ibrahim Kiirya waakwetikka obuvunaanyizibwa bwe.
“Simannyi ddi lwe naagenda kuba bakama bange bakyalina okumaliriza empapula z’omuzannyi waffe,” Nkata, bwe yategeezezza eggulo.
Mu ngeri y’emu abakungu ba Express batuuyana zikala oluvannyuma lw’omutendesi waabwe Sam Ssimbwa okwebulankanya n’atagenda na ttiimu mu mpaka ze zimu.Ssimbwa amaze wiiki ssatu ng’atendeka Express wabula ttiimu bwe yatuuse okusitula teyalabiseeko.
“Sseekakasa oba Simbwa ali wamu naffe kuba twalina okujja naye wabula n’atubulako,” omukungu wa Express, Muhamood Kateregga bwe yategeezezza nga baakatuuka e Sudan eggulo.
Ssimbwa abuze ku Express